Kitalo Ssaabasumba eyawummula Odongo ne Faaza Jjagwe ne bafudde lumu!
Fr. Charles Jjagwe bwannamukulu w'essaza Wamba Mission afudde. Ono ava Ssaza ly'e Masaka era yaliko bwannamukulu of Bweyogerere.
Ono yakebeddwa e Kenya nga yaakava mu Uganda n'asangibwa n'obulwadde bwa Covid 19 n'atwalibwa mu Mpisha Hospital e Nairobi gy'afiiridde ku ssaawa nga 5:00 ez'oku makya.
Ate Ssaabasumba eyawummula ow'essaza lye Tororo, James Odongo yafiiridde Nsambya ku makya ga leero .
Okusinziira ku muwandiisi w'olukiiko olugatta Abasumba Msgr. John Baptist Kauta ono yatwalibwa e Nsambya ku Lwokubiri era yafudde ggulo ku myaka 89.
Kauta yagambye Odongo baamuweereza e Nsambya nga bamuggya e Tororo olw'embeera ye okuba embi ate nga yeeyongera kunafuwa.
Fr Philip Odii, omwogezi w'olukiiko olugatta abasumba yakakasizza okufa kwa Odongo.
Odongo yazaalibwa ku kyalo Molo mu disitulikti ye Tororo nga March 27, 1931.
Friday, December 4, 2020
KITALO! SSAABASUMBA EYAWUMMULA NE FAAZA JJAGWE BAFUDDE LUMU
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...
-
South Africa's Health minister says the nation will still hit its COVID-19 vaccination targets, even as it pauses the use of the Johnson...