ENKOLA y'okusiiga ebibajje ne vanisi nga weeyambisa bbulaasi bw'egenze esikizibwa obuuma obufuuwa, ababuguze bali mu kuyoola nsimbi. Ebirungo ebisinga ebigenda ku bibajje omuli ebisooka (undercoat) vanisi asooka, addirira n'asembayo byonna bifuuyirwa na buuma bw'amasannyalaze.
Oyingira otya bizinensi eno? Wadde ng'ababazzi ebiseera ebisinga be bafuuwa oba okusiiga ebibajje byabwe, enkola egenze ekyuka nga waliwo okwawula emirimu. Tekikwetaagisa kubeera mubazzi wadde nga toyinza kwewala babazzi kuba be basinga okutambulirako emirimu gy'okufuuwa ebibajje.
Obukugu mu mulimu guno bwetaagisa naddala entambula ya vanisi oba ebirungo ebirala ebigenda ku bibajje ssaako n'engeri y'okubiwawula okutuukana n'omutindo oguba gwetaagisa. Ssente ezigula obuuma Wakati wa 509,000/- ne 600,000/- ofuna akuuma ak'omulembe nga kuno ogulirako omutwe ogufuuwa (ggaani) ku 30,000/- wamu ne waya y'amasannyalaze ku 15,000/-.
Okufuuwa ekitanda ekitali kinene ng'ebirungo byonna nga si bibyo kya 10,000/- sideboard ennenemu ya 20,000/- n'ebirala wabula ng'oluusi mubaamu n'okuteesa okusinziira ku ntegeeragana n'obungi bw'emirimu egibaawo.
Olunaku osobola okufuuwa ebitanda bitaano singa emirimu gibaawo nga kino kitegeeza nti osobola okunnyuka ne 50,000/- olunaku. Binnyonnyoddwa Eric Mwesigwa nga mubazzi mu Ndeeba.