
ROBERT Kyagulanyi (Bobi Wine ) eyeesimbyewo ku bwapulezidenti ku kkaadi ya NUP asazizaamu kampeyini ze asooke akungubagire munywanyi we, Sheikh Muzaata afudde olwaleero.
Kyagulanyi abadde asuubirwa okunoonya akalulu e Bulambuli, Bukedea ne Ngora ku Lwomukaaga .
"Enkya babadde batusuubira e Bulambuli, Bukedea ne Ngora naye tujja kuddamu okukola entegeka tusooke okuddayo e Kampala tukungubagire wamu ne famire ya Sheikh Muzaata", Kyagulanyi bw'agambye.
Muzaata afiiridde mu ddwaaliro lya International Hospital e Kampala gy'abadde ajjanjabirwa okumala wiiki bbiri.
Muzaata okulwala yasooka kuziika Sheikh Dr. Anas Kaliisa e Ntungamo omwezi oguwedde.