
KKANSO y'e Kawempe egenda kutuula mbagirawo wiiki ejja okusiima emirimu gya Sheikh Muzaata bamubbulemu oluguudo ng'ekijjukizo .
Oluvannyuma lw'amawulire g'okufa okusaasaanira eggwanga aba ffamire ya Sheikh Muzaata ,emikwano Bannakawempe beeyiiye mu maka ga Muzaata agasangibwa mu Keeti Falawo e Kawempe era abasinga baamwogeddeko ng'omusajja abadde aterya ntama
Emmanuel Sserunjogi meeya w'e Kawempe yategeezezza nti Muzaata abadde mpagi nnene nnyo mu Munisipaali y'e Kawempe ng'era babadde baakamuwa ekirabo eky'omusiima ebirungi byakoledde Kawempe.
Yagasseeko nti Kanso ey'enjawulo egenda kutuula wiiki ejja basiime emirimu gya Muzaata ng'era bagenda kumubbulamu oluguudo ng'ekijjukizo.
Latif Ssebaggala omubaka wa Kawempe North yategeezezza nti Muzaata aleze abantu bangi mu ddiini. Yagasseeko nti bbo baali baamuyingiza mu ffamire nga yafuuka muganda waabwe ng'okufa kwe kulese eddibu ddene mu ggwanga .
Haji Musa Kakembo Muzaata ng'ono yabadde adda ku mugenzi yategeezezza nti babadde bawuliziganya n'abasawo ng'era ku Lwokutaano baabategezezza nti omuntu waabwe akubye ku matu ekyayongedde okubazzaamu amaanyi ng'amawulire g'okufa gabaakubye wala , yagasseeko nti omugenzi waakuziikibwa Kigoobwa mu Disitulikiti y'e Wakiso.
Shafik Mutebi ayita Muzaata Kojja " Nasembye okwogera naye ku ssaawa 7:00 ez'emisana ku Lwokutaano nandagira ngulire abantu b'abawaka emmere wabula namugambye Sheikh nga bakubika nnyo n'anziramu nti agenda kuwangaalira ddala n'antegeezza nti bagenda kumusiibula ku wiiki eno ku Ssande.
Sulaiman Kakooza : Nze okufa kwa Muzaata kunkubye wala bulijjo babadde bamubika ku ‘Social Media' ne leero mbadde mmanyi balimba, mmaze kutuuka mu maka ge nga kituufu. Allah amulamuze kisa Muzaata!