Sunday, December 27, 2020

Kyagulanyi ayimirizza kkampeyini ze

Kyagulanyi ayimirizza kkampeyini ze

Robert Kyagulanyi akwatidde ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bbendera ayimirizza kampeyini ze oluvannyuma lwa bannamawulire basatu okufuna obuvune obw'amaanyi bwe wabaddewo akanyolagano wakati we ne poliisi .

Bannamawulire okuli; Ashraf Kasirye (Ghetto TV), Daniel Lutaaya (NBS TV) ne Ali Mivuule (NTV Uganda) be bafunye ebisago mu kulwanagana kuno okwabadde e Kyabakuza, kkiromita musanvu okuva e Masaka.

Kyagulanyi eyabadde agenda mu disitulikiti y'e Lwengo okwogerako n'abawagizi be, yasaze emisanvu egyassiddwaawo poliisi e Kyabakuza nga babaagala bayite walala bbo kye baagaanyi ekyawaliriza poliisi okukozesa amaanyi .

Mu kanyolagano kano Kasirye eyabadde akwata amawulire obutereevu ng'agaweereza ku Ghetto TV, yalumiziddwa ekigambibwa okuba essasi lya  ‘rubber' wabula ye omwogezi wa poliisi mu ggwanga yagambye nti yakubiddwa kakekebe kya ttiyaggaasi.

Kyagulanyi tayogedde ddi lwanaddamu kampeyini ze. Mu kiseera kye kimu akakiiko k'ebyokulonda kayimiriza kkampeyini zonna mu bitundu bya Buganda bisinga obungi omuli Luweero, Kampala, Wakiso n'awalala.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts