Friday, December 11, 2020

Lwe nawasa omusezi saddamu kulonda kkubo

Lwe nawasa omusezi saddamu kulonda kkubo

EBIZIBU bye ndabidde mu mukwano saagala mulala kubifuna anti lwe nawasa omusezi lwe nategeera nti ensi si nnyangu.

Eno y'ensonga lwaki buli muntu yandiwasizza omuntu ng'ategedde gye bamuzaala. Okuva lwe natandika eby'omukwano, sirina mukazi gwe nnali nfunyeemu mukisa.

Nze Mukasa Ssemakula 50, abangi bammanyi nga Last, ndi muganda w'omugenzi Majidu Musisi. Mu mukwano okufuna omutuufu gubeera mukisa naye nze tegunnantomera nga ntuuse n'okusibwa enfunda eziwera mu makomera ag'enjawulo lwa nsonga za mukwano.

Abakazi bano nabalaga nnyo omukwano ekyabaleetera okunjooga ne batuuka n'okuleeta abasajja mu nju.

Nnina abaana 20 n'omusobyo nga buli mwana ne nnyina si lwa kuba nti bwe nnali nkyagala naye nalemwa okufuna omukazi omutuufu antegeera.

Nkizudde luvannyuma nti ensobi yali yange kuba ku bakazi bonna tewali gwe naggya mu bazadde be, abasinga nabasanganga mu bbaala na mu makubo.

Buli mukazi alina omuze gwe; waliyo omuyombi, omucaafu, ow'olugambo n'ebirala ebintu bye nnali sisobola kugumiikiriza. Wabula ate omukazi omwezi ye ayinza n'okukulemesa okukola kuba buli kiseera obeera olowooza gy'atambulidde.

Lumu nnali nkyabeera e Mulago, namusanga aleese omusajja mu buliri bwaffe ne mbakuba bubi nnyo okukkakkana nga nsibiddwa e Luzira mu Upper Prison.

Mu 1996 nawasa omukazi nemuzaalamu abaana babiri, twamala naye emyaka 5 ne nkizuula nti yali musezi nga andeka mu buliri n'agenda okusera. Bwe nakitegeera ne muliimisa ne neefuula eyeebase n'afuluma n'agenda ku mirimu gye nga bulijjo.

Yagenda okudda ng'alowooza nkyebase n'ayingira mu buliri ng'annyogoga kwe kumubuuza gye yali ava n'asirika ne mukuba kwe kunyinyonnyola nga bwe yalina ekitambo wabula n'ankakasa nga bwatalya bafu okuggyako okusera obusezi.

Ono saamulwisa ne twawukana naye ekintiisa be baana bange okuba nga baatwala omuze gwa nnyaabwe. Nsaba Katonda ansaasire kw'ekyo.

Nsaba abavubuka abatannawasa, okufuna abakazi okuva mu bazadde baabwe kuba kye nzudde obufumbo obuzze busasika obusinga abakazi baba tebaafuna kubuulirirwa kuba abasajja babalonda makubo.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts