MBA naakatandika okunyumirwa omukwano ate nga munnange akomekkereza. Kino kirudde era ebiseera ebisinga andeka bubi. Naye nafunayo omusajja omulala ategeera embeera zange kyokka saagala kutta bufumbo bwange.
Nkoze ntya okuwabula ow'eka?
Abasajja bangi tebamanyi nti omubiri gw'omukyala tegufaanana gwa musajja. Omusajja afuna mangu obwagazi era kyangu okwegatta ekitali ku bakyala kubanga oba olina okumunoonya asobole okufuna obwagazi okwegatta.
Ate ne bw'abufuna olina okusigala ng'omunoonya n'okukola ebimusanyusa asobole okutuuka ku ntikko. Omukyala ssinga omuleka bubi buli kiseera, ayinza okukemebwa era bw'agezaako omusajja ng'amuwa obudde weesanga ng'amaka gafudde.
Kale baana bange abalenzi, mulina okutegeera emibiri gya bakyala bammwe bwe gikola ne mubanoonya n'otuuka okwegatta naye ng'afunye obwagazi.
Kyokka wakola bubi okwenda. Ekirala, balo ayinza okuba nga mukulu mu myaka oba ng'alina endwadde nda sukaali ne puleesa. Bino binafuya omubiri. Yogerako naye
Nkubiraako ku 0772458823 tulabe bwe tumuyamba.
Source