ABATUUZE bakulukusizza amaziga omwana wa munnaabwe abadde agoberera kitaawe bbaasi bw'emutomedde n'emuttirawo. Omulambo gusesebuddwa era poliisi ereese kkutiya mwepakidde ebitundutundu by'omubiri ebibadde bisaasanidde mu luguudo.
Akabenje kano kagudde Namataba ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja. Omwana bbaasi gwesse ategeerekese nga ye Akiram Nyanzi (5) mutabani wa Rose Nassuuna ne Charles Nyanzi abatuuze b'e Kyaawangabi mu Namataba Town Council mu disitulikiti y'e Mukono.
Nassuuna agambye nti omwana ono abadde ne baganda be ku luguudo bba Nyanzi waabadde ng'abatumye okunona ssente z'enva era n'abawa 10,000/- n'azimuleetera ne badda awaka era yeewuunyizza engei gy'amubuzeeko okuddayo ku luguudo kitaawe gy'abadde apimira ebyuma ebikadde.
Agenze okutuukayo nga kitaawe avuddewo kwe kusala oluguudo wabula mu kuddamu okusala oluguudo mmotoka weemukoonedde. Abaabaddewo bagambye nti bbaasi ebadde eva Jinja ng'edda Kampala era mu kumukoona babadde balowooza nti amaze okusala.
Nassuuna agambye nti omwana ono abadde yamutwaala wa Jjajjaawe e Seeta Nazigo okulya Ssekukkulu nti olukomyewo olunaku lumu mmotoka n'emutta.