Monday, December 28, 2020

Mukuume ebyama ng'omugenzi Sseriiso - Katikkiro Mayiga

Mukuume ebyama ng'omugenzi Sseriiso - Katikkiro Mayiga

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye abantu bulijjo okukola ebyo ebikuuma ekitiibwa kya Buganda ate n'okugizza ku ntikko.

Bino abyogeredde mu Klezia ya Our Lady of Mt. Carmel e Kansanga mu ggombolola y'e Makindye- Kampala mu kusabira omwoyo gw'Omugenzi Charles Sseriiso ng'ono ye yatereka engabo y'ebika by'Abaganda mu 1966 ng'Obwakabaka buggyiddwawo.

Katikkiro Mayiga (ku Kkono) Ne Mukyala We Addiriddwa Ambasadda Ssendaula.

Omugenzi Sseriiso

Abamu Ku Bannaddiini Abeetabye Ku Mukolo Gw'okusabira Sseriiso.

Abamu Ku Bamulekwa Ba Sseriiso.

Mayiga yeebazizza Omugenzi Sseriiso olw'okubeera omuntu akuuma ebyama bwe yasirikira ekyama ky'okubeera n'engabo eno eyali enoonyezebwa gavumenti ya Obote eyali eggyeewo Obwakabaka.

Mu kubuulira Omusumba w'e Lugazi eyawummula, Bp. Mathias Ssekamanya naye asabye Abaganda okuzzaawo ennono y'okukuuma ebyama okubeera ekitundu ku bulamu bwabwe nga bwe kyabeeranga edda.

Omugenzi yafudde nga December 23,2020. Aziikibwa kati ku kiggya kya bajjajjabe e Bunnamwaya mu ggombolola ye Makindye- Lufuka.

Ono yabadde mukulu wa FX Kitaka nnannyini Quality Chemicals eyafa mu September omwaka guno obulwade bwa Covid 19.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts