Wednesday, December 30, 2020

Abasomesa mufune amakubo mangi agayingiza ssente - Polof. Badru Kiggundu

Abasomesa mufune amakubo mangi agayingiza ssente - Polof. Badru Kiggundu

EYALI Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda, Polof. Badru Kiggundu asabye abasomesa mu ggwanga obutayimirira ku kkubo limu ery'okuyingiza ensimbi nga kino kyakubayamba okulongoosa obulamu bwabwe.

Bino yabyogedde kawungeezi k'eggulo bwe yabadde omugenyi omukulu ku kijjulo ky'abasomesa Abasiraamu abeegattira mu kibiina kya Uganda Moslem Teachers Association (UMTA) nga kyabadde ku Hotel Africana mu Kampala.

Abamu Ku Basomesa Abali Mu Kibiina Kino Nga Bali Ne Polof. Kiggundu.

Abasanyusizza Abantu Ku Mukolo Guno.

Abasomesa Nga Bagabulwa Ku Kijjulo Kyabwe.

Ye Sharifah Namatovu nga ye yabadde Ssentebe w'olukiiko olwategese ekijjulo  kino yategeezezza nti olw'embeera eyaleetebwa obulwadde bwa Ssenyiga wa corona bateekateeka okutandikawo enkola ennaasitula abasomesa kinnoomu  mu byenfuna.

Polof. Kiggundu yatongoza enteekateeka y'ekibiina kino eyatuumiddwa 'Donate a Library' nga yaakuyamba okutumbula ebyensoma mu masomero gammemba g'ekibiina kino.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts