Wednesday, December 23, 2020

Museveni aleebya bugwanjuba ne bukiikakkono, Bobi Wine anywezezza Kampala ne Wakiso

Museveni aleebya bugwanjuba ne bukiikakkono, Bobi Wine anywezezza Kampala ne Wakiso

OKUNOONYEREZA era kwongedde okuzuula nti, singa akalulu kakubwa kati, eyeesimbyewo ku kkaadi ya NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu awangula mu kitundu ekya Buganda ne Kampala.

Mu Kampala, ku bantu abaatuukiriddwa, ebitundu 54.3 ku 100 baagambye nti bo bagenda kulonda Kyagulanyi so nga abantu ebitundu 34.7 baategeezezza nti akalulu kaabwe ka Museveni.

            Ani Gw'osuubira Okuwangula.

Wabula bwe baabuuziddwa ani gwe basuubira anaawangula akalulu k'Obwapulezidenti, abantu ebitundu 54.3 abaatuukiriddwa mu Kampala baagambye nti basuubira Museveni okuwangula so nga abantu ebitundu 40 ku 100 baagambye nti basuubira Kyagulanyi okuwangula obwapulezidenti.

MU BUGANDA BOBI TAWUNYIKAMU
Okunoonyereza kwazudde nti singa okulonda kubaawo leero, Kyagulanyi awangula Museveni mu kitundu kya Buganda n'obululu ebitundu 51.5 ku 100 nga ye Museveni afuna obululu ebitundu 54.1 ku 100.

Buganda erimu disitulikiti ezisoba mu 20 okuli, Wakiso, Masaka, Mpigi, Butambala, Gomba, Sembabule, Mityana, Mubende, Luweero, Nakaseke, Nakasongola, Kayunga, Mukono, Buikwe, Kyotera, Rakai, Kalungu, Kasambya, Lyantonde, Kalangala ne Buvuma, nga kino kye kitundu ekisinga abantu abangi mu bitundu 4 ebikola Uganda ng'okubala abantu okwasembayo kwalaga nga Buganda erina abantu obukadde
6.

Mu balala abeesimbyewo ng'oggyeeko Museveni ne Kyagulanyi, ku balonzi abaatuukiriddwa, abantu ekitundu 0.8 ku100 baagambye nti bajja kulonda Amuriat owa FDC, abantu 1.1 ku 100 ne bagamba nti akalulu kaabwe ka Nobert Mao, 0.8 ku 100 bagenda kulonda Mugisha Muntu, 1.1 ku 100 ba Nancy Kalembe, 0.5 ku 100 ba Tumukunde, 0.1 ku 100 ba Kabuleta, 0.1 ku 100 ba Willy Mayamba ate 0.4 ku 100
ba John Katumba.

             Ani Gw'onoolonda

MUSEVENI OBULULU WAAKUBUKUMBA MU BUKIIKAKKONO, BUGWANJUBA NE BUVANJUBA
Akalulu singa kakubwa olwaleero, Pulezidenti Museveni asobola okuwangula mu bitundu bya Uganda 3 okuli, Obukiikakkono, obugwanjuba n'obuvanjuba bwa Uganda.

Museveni asinga kweriisa nkuuli mu kitundu eky'obuvanjuba ng'eyo alina obuwagizi bwa bitundu 72.7 ku100 singa akalulu kakubwa olwaleero ate nga Kyagulanyi akwata kifo kyakubiri mu buvanjuba n'obululu ebitundu 17.4 ku 100.

Graph

Ekitundu Museveni gy'addako okuba n'obuwagizi obw'amaanyi kya bukiikakkono ng'eyo singa akalulu kakubwa olwaleero, Museveni awangula n'ebitundu 61 .7 ku 100 n'addirirwa Kyagulanyi n'obululu ebitundu 17.6 ku 100.

Mu bugwanjuba, akalulu bwe kakubwa olwaleero, Museveni awangula n'obululu ebitundu 42.7 ku 100 n'addirirwa Kyagulanyi n'obululu ebitundu 34.2 ku 100.

Okunoonyereza kwalaze buli omu ku bantu 11 abeesimbyewo ky'asinga amaanyi nga Amuriat obuwagizi bwe obusinga buli mu kitundu eky'obugwanjuba gy'alina obuwagizi bwa bitundu 8.3 ku 100 ate Mao amaanyi agalina mu bukiikakkono n'obululu ebitundu 7.1 ku 100, ate Mugisha Muntu amaanyi ge gali mu buvanjuba gy'alina obuwagizi bwa bitundu 2.2 nga ne Tumukunde otwanyi twalina tuli
mu buvanjuba n'obutundu 0.7 ku 100.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts