Wednesday, December 23, 2020

Abalonzi Kyagulanyi bamuwadde obululu 30 ku 100

Abalonzi  Kyagulanyi bamuwadde obululu 30 ku 100

Mu bibuga, abaalaze nti bagenda kulonda Museveni bali ebitundu 44 ku buli 100 ate Kyagulanyi bali 40 ku buli 100. Mu bibuga Amuriat ali ku bitundu 3.7 ku buli 100.

Mao mu byalo ali ku bitundu 2.4 ku buli 100 ate mu bibuga ali ku bitundu 1.6 ku buli 100. Mu bibuga Mugisha Muntu asingako ku Mao kuba ali ku bitundu 1.8 ku buli 100 kyokka mu byalo Mao asinga ku Muntu.

Nancy Kalembe omukazi yekka avuganya, yafunye omuntu omu ku buli 100 mu byalo ate mu bibuga ali ku 0.7 ku buli 100.

Museveni awagirwa nnyo abakazi era bamulonda ebitundu 56 ku buli 100 ate abasajja bamulonda 51 ku buli 100.

Abakazi 1.2 ku buli 100 baalaze nti beetegefu okulonda Kalembe kubanga mukyala munnaabwe ate abasajja 0.7 be beetegefu okumulonda.

Abakazi batono baalaze nti bajja kulonda Amuriat kuba tebasukka 3.8 bw'ogeraageranya n'abasajja abawera 4.2.

Okunoonyereza kuno kwalaze nti Kyagulanyi asinga kuwagirwa basajja abakola ebitundu 33 ate abakazi bali ebitundu 28 ku buli 100.

Abantu 58 ku buli 100 balina essuubi nti okulonda kwa Pulezidenti, ababaka ba Palamenti n'obukiiko bwa Gavumenti z'ebitundu kujja kubeera kwa mazima na bwenkanya.

Kino bakyesigamya ku by'okwerinda ebinywevu, enkola ennambulukufu ey'okulonda n'akakiiko k'ebyokulonda n'ensonga endala.

Kyokka abalonzi 41 tebakkiriza nti okulonda kujja kuba kwa mazima n'obwenkanya olw'ebikolwa by'okugulirira balonzi ebigenda mu maaso.

Ebikolwa by'obumenyi bw'amateeka n'obutaagala kuwaayo buyinza y'emu ku nsonga
ereetera abantu okubuusabuusa nti okulonda kujja kuba kwa mazima na bwenkanya, okusinziira ku kunoonyereza kuno.

LWAKI MUSEVENI ALEEBYA
Abaalaze nti bagenda kulonda Museveni baalaze nti bakyamulabamu obusobozi obukulembera, ebisuubizo by'alina okukulaakulanya eggwanga, obumalirivu n'obwagazi bw'alina mu bantu.

Olw'okuba nga buli kimu kiri wansi we y'ensonga endala kwe basinziira okulowooza nti ajja ku- wangula okulonda.

Kyagulanyi abamuwagira bagamba nti ekijja okumuwanguza okulonda bwe buwagizi
obungi bw'alina naddala mu bavubuka, asuubizza okulwanyisa enguzi n'ensonga endala.

Amuriat abamuwagira bagamba akyayinza okuwangula olw'okuba asuubizza okuleeta enkyukakyuka mu Gavumenti.

ENGERI OKUNOONYEREZA GYE KWAKOLEDDWAAMU
New Vision ezze ekola okunoonyereza okw'ekika kino buli kulonda kwa Pulezidenti bwe kuzze kubeerawo.

Abaabuuziddwa bonna baweza emyaka 18 n'okudda waggulu nga kuliko abakazi n'abasajja. Ababuuziddwa bonna baamaze kukakasa nga tewali ajja kumanya gwe balonda.

Disitulikiti 45 ze zaatunuuliddwa nga ziteereddwaamu emiteeko ena n'obubinja obulala 15. Ababuuziddwa bonna baatuukiriddwa mu buntu.

ABALONZI KYE BOOGERA KU BE BALONDA
Museveni: Akyasobola okukulembera eggwanga, muvumu era alina n'ebisuubizo by'okukulaakulanya eggwanga.

Ayagalwa abantu bangi, y'afuga buli kimu. Abadde mu buyinza era  obukodyo bwonna abulina.

Kyokka abalala baalaze nti ajja kuwangula kubanga tayinza kukkiriza kuva mu buyinza ate nga y'afuga ebitongole ebyetooloolerwako akalulu kye balowooza nti kimuwa n'enkizo okufuna obululu obw'amancoolo.

Kyangulanyi: Alina nnyo obuwagizi okuva mu balonzi era abantu gwe baagala mu kiseera kino. Asuubizza okukyusa obukulembeze era abantu kye baagala.

Asuubizza okutondawo emirimu n'okulwanyisa obwavu mu ggwanga.

Asuubizza okulwanyisa enguzi.

Amuriat: Asuubizza okukyusa Gavumenti ate ng'alaze obumalirivu.
Akyalina embavu era mwetegefu okukulembera eggwanga.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts