Tuesday, December 22, 2020

Muto wa Museveni amezze muwala wa Kuteesa mu kkooti

Muto wa Museveni amezze muwala wa Kuteesa mu kkooti

MUTO wa Pulezidenti Museveni, amanyiddwa nga Aine Godfrey Sodo awangudde omusango gwe Mawogola North ogw'okumumma kkaadi y'ekibiina kye ekya NRM.

Kkooti enkulu yasazeewo nti okusazaamu obuwanguzi bwa Sodo kyakolebwa mu bukyamu kubanga abaakakiiko akaateekebwawo okunoonyereza ku mivuyo egyali mu kamyufu ka Mawogola North e Sembabule, tebaagoberera mateeka.

Sodo okuwangula akamyufu ka Mawogola North yali avuganya ne Shartis Musherure Kuteesa, muwala wa minisita Kuteesa abadde omubaka wa Mawogola North. Omulala avuganya ye Salim Kisekka.

Mu kamyufu, Sodo yawangula n'obululu 17,347 bye bitundu 46 ku 100, Musherure n'afuna obululu 16,104 (ebitundu 42.7 ku 100) ate Kisekka n'akwata kyakusatu
n'obululu 4,274 (ebitundu 11.3 ku 100) era eyakulira akamyufu mu Sembabule William Katokozi n'alangirira Sodo nga omuwanguzi agenda okukwatira NRM kkaadi.

Akalulu kano kaali kakubeerawo nga September 4, 2020 kyokka kaakomekkereza kakubiddwa nga September 30, 2020 olw'akavuyo akaaliyo akaawaliriza ne ssentebe
wa NRM Pulezidenti Museveni okugendayo okutabaganya enjuyi zombi.

Oluvannyuma lwa Sodo okulangirirwa ku buwanguzi, Musherure yaddukira mu kakiiko k'ekibiina akaateekebwawo okuwulira okwemulugunya okuvudde mu kulonda (NRM Election Disputes Tribunal) ng'awakanya obuwanguzi bwa Sodo.

Musherure yasaba obuwanguzi bwa Sodo busazibwemu ng'amulumiriza okuleeta emivuyo mu kulonda n'okubba obululu.

Akakiiko akaaliko Isaac Kyagaba ne Ahmed Kalule Mukasa baawuliriza ensonga okuva eri enjuyi zombi kyokka ssentebe waako Enock Barata teyaliiwo.

Kyokka ate ataaliwo (Barata) n'asala omusango ng'agamba nti Sodo yakola emivuyo era ensonga n'aziweereza akakiiko ka NRM ak'oku ntikko akakulemberwa Hajji Moses Kigongo okusalawo eky'enkomeredde.

Kigongo yasalawo nti NRM tegenda kuwa Sodo ne Musherure kkaadi ya NRM wabula bombi babbinkane mu kalulu ka bonna nga tebalina kibiina kwe bajjidde.

OMULAMUZI KW'ASINZIDDE OKUSALA OMUSANGO
Omulamuzi Musa Ssekaana bwe yabadde asala omusango, yagambye nti kikyamu omuntu atawulidde bujuluzi (Barata) okusala musango kubanga by'aba asala
abeera talina kw'asinziira.

Yagambye byonna Barata bye yasala ng'agamba nti okulonda kwalimu emivuyo era n'asindika ensonga mu kakiiko ak'oku ntikko, kkooti ebisazizzaamu n'ekiragiro kya Hajji Kigongo ekya bombi okwesimbawo nga tebalina kibiina n'akisazaamu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts