Saturday, December 12, 2020

Muzaata yayogedde ku ffujjo ly'abaserikale nga tannafa

Muzaata yayogedde ku ffujjo ly'abaserikale nga tannafa

SHEIKH Nuhu Muzaata nga tannafa yayogedde ku ffujjo ly'abaserikale abakuba n'okutta abantu. N'agamba;

Museveni yayogeranga nga toyagala na mwana akolola, ng'okolimira omukazi azadde omwana alwadde ekifuba akugaana okuwuliriza ebigambo bya Museveni.
Mu bintu Museveni bye yalina "security" ng'owamagye omusimba oluyi. "Economy" yali nnungi-lungi nga si mbi.

Kasita olaba ebintu ebyeyimirira omuntu ng'ajja mu buyinza nga biweddewo, omugezi akwatamu ebibye n'agenda. Ebyabeeyimirira nga mujja mu buyinza bigaanyi. Njagala okubagamba mukwate ebyammwe mugende kubanga ebyabeeyimirira nga mujja mu buyinza bigaanyi.

Wano tewali bamafiya. Kye twabagamba nti mujja kusala abantu, mujja kutuga abantu, mujja kutemula abantu. Ebyayisanga Idd Amin Amin kijambiya nammwe bwe muli.

Kiki ekyakolwa ku mulembe gwa Idd Amin kye mutakoze olwaleero? Ekintu mukibeerako na maanyi gammwe tetulina kye tuyinza kubagamba naye Mungu abalinze mu kkoona Insha Allah.

Ngenda ne mbawulira nga bali awo batudde, kiringa kibiina kya katemba bateesa gye bagenda okuzannyira. Ochola, Sabiiti, Muhoozi olabira ddala abantu b'akatemba.

Ekiri mu nsi "security" ebalemye, abantu bafa, abasirikale ne bakuba abantu emiggo.
Abaana bakuze, nnina ekirenzi ekito kya myaka 10 buli kye nkola, nkikola mu ggiya.

Ekirenzi nnakitwala mu International School. Nkisasulira obukadde 10. Saagala kyejjuse nga bamaze okunkuba amasasi. Njagala amanye nti wadde taata baamutta…

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts