POLIISI ya CPS ng'eduumirwa akulira ebikwekweto ku CPS, Ivan Nduhura ekoze ekikwekweto ku bantu ababadde batambula mu kibuga nga tebambadde masiki okukkakkana ng'abasoba mu 100 babayodde.
Ekikwekweto kino kyabaddewo ku Lwokuna nga kyatandikidde ku CPS ne badda ku Mutaasa Kafeero, Kiyembe, ku Yamaha Center n'enguudo endala ezeetoolodde Kampala.
Abaserikale ba poliisi ekkakkanya obujagalalo nga bali wamu ne poliisi y'abulijjo obwedda batambula nga buli gwe basanga nga tayambadde masiki n'abazambadde obubi nga babayimiriza.
Obwedda Nduhura buli muntu amuwa omukisa okwewozaako okugeza abaabadde balina ebirwadde ebibalemesa nga babaleka ate abamu abawa ensonga ezessimba ng'abalagira okuzigula bazambale.
Abaabadde bagezaako okukola effujjo n'abaabadde bazirina naye nga tebaagala kuzambala naabo obwedda abagezaako okuwanyisiganya ebisongovu n'abaserikale baakwatiddwa ne bateekebwa ku poliisi ya Mini Price we baabaggye oluvannyuma okubatwala ku CPS.
Baddereeva ba bodaboda ne mu mmotoka z'olukale nga ttakisi nabo tekyabatalizza era obwedda mu mmotoka namwo abaserikale baggyamu abatayambadde masiki.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti abantu abawerako baakwatiddwa mu kikwekweto kino nga bakikoze okuteeka mu nkola amateeka ga minisitule y'ebyobulamamu agatangira okusaasaanya Corona.
Saturday, December 12, 2020
Atambadde masiki kati kkomera
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...