Omulabirizi w'e Mukono, James William Ssebaggala akulembeddemu okwawula abasumba, okugaba obudyankoni n'okuwa ebbaluwa eyookusatu eri ababuulizi.
Bino bibadde mu kusaba okugenda mu maaso mu kkanisa y'Abatukuvu Firipo ne Ndereya mu Lutikko y'Obulabirizi bw'e Mukono. Abasumba abaawuliddwa bali basatu, abadyankoni 13 n'ababuulizi abaweereddwa ebbaluwa eyookusatu 42.
Bp. Ssebaggala akunze Abakulisitaayo okwongera amaanyi mu kudduukirira omulimu gw'okusomesa abaweereza mu kkanisa. Agambye nti ng'obulabirizi, baasalawo be bavunaanyizibwa ku kuweerera abaweereza wabula ng'omulimu guno gutwala ensimbi nnyingi nnyo.
Rev. Dunstan Kiwanuka okuva mu bulabirizi bw'e Namirembe nga ye yasirisizza abaweereza bano era y'abuulidde. Ono asabye abagole bano okulwana ennyo okulaba ng'ekkanisa bagireka ng'eri bumu nga bwe bagisanze.