Sunday, December 13, 2020

Abaana bafiiridde mu dduuka

Abaana bafiiridde mu dduuka

EMIRANGA n'okwazirana bibuutikidde abatuuze ku kyalo Jokolera mu ggombolola y'e Nangabo mu disitulikiti y'e Wakiso abaana babiri bwe basangiddwa nga bafiiridde mu dduuka ate maama waabwe naddusibwa mu ddwaaliro e Mulago n'omwana omulala nga bali mu mbeera mbi.

Maama w'abaana abaafudde.

Abaafudde kuliko: Miracle Nalubega 10 ne Kisakye Godwin 1 ate maama waabwe Joyce Hariet Namuli abadde ataawa n'omwana we Mark Tendo. Taata w'abaana bano Golola agambye nti olunnaku olweggulo yabagulidde enkoko kyokka nga tamanyi nti yabadde abasiibula kubanga baabadde balamu bulungi era bwe zaatuuse ssaawa z'okwebaka ne bamusiibula nga bulijjo.

Taata Golola ng'aliko byannyonnyola OC CID w'e Wattuba Herman Mutaawe.

Kansala w'ekitundu kino, Micheal Nakibinge asabye Pulezidenti okuteeka ebikozesebwa ku poliisi kuba bwe wabaawo obuzibu poliisi erwawo okutuuka kyokka n'eyanguwa mu kugumbulula bannabyabufuzi.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano, Patrick Onyango ategeezezza nti abagenzi baafudde kiziyiro era poliisi etandise okunoonyereza.

Nga bateeka omulambo mu Ambyulensi okugutwala mu ddwaaliro e Mulago.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts