Wednesday, December 9, 2020

Nancy Kalembe avuganya ku bwapulezidenti aweddemu

Nancy Kalembe avuganya ku bwapulezidenti aweddemu

Bya Margaret Zalwango
Nancy Linda Kalembe omukyala yekka avuganya ku bwa pulezidenti ayimirizza kampeyini ze. Agamba nti ssente z'okukozesa zimuweddeko. Kalembe agamba nti mu kiseera kino yeetaaga wakati w'obukadde 125 n'obukadde 150 okumuyamba mu nnaku 36 ezisigaddeyo okutuuka ku kulonda.
 
Ono agambye nti agezezzaako okulaba ng'akozesa ssente entono zaalinawo naye mu kiseera kino zimuweddeko n'asaba abasobola okumudduukirira bamuyambe mu kaweefube w'okufuna Entebe y'obwapulezidenti 2021.
 
Nancy era yeevumye abantu abafudde ebyobufuzi ebya ssente ng'atazirina tasobola kuvuganya n'asaba abantu bamuwe obuwagizi atereeze ebyobufuzi by'eggwanga. Ategeezezza nti yeetaaga ssente ez'okugula amafuta g'emmotoka, okulya , okusula ssaako ebyetaago ebirala ng'olunaku yeetaaga ssente eziri wakati wa 1,000,000/- ne 2,000,000/-.
 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts