AKATALE y'ennimiro ya Bannayuganda bangi ddala, naye bw'otuuka mu butale obutali bumu mu Kampala tolema kwebuuza oba ddala baali bawulidde ku bulwadde bwa ssennyiga omukambwe owa Corona. Obutale bwe ntambuddemu kuliko; Kaleerwe, Wandegeya, Kasubi, Nakasero, Nakawa, Kamwokya ne Ntinda.
KU KALEERWE OMULYANGO GUMU KWE KULI AKUBIRIZA OKUNAABA MU NGALO: Akatale k'e Kaleerwe, kaayawulwamu obutale obw'enjawulo era buli kamu kalina obukulembeze. Mu katale ka Bivamuntuuyo, we nnasanze omuvubuka ajjukiza abantu okunaaba mu ngalo nga tebannakayingira. Wadde yabadde tayambadde masiki, obwedda tewali muntu gw'akkiriza kuyingira nga tanaabye mu ngalo era yabadde mukambwe nnyo ku nsonga eno.
Michael Musoke Mugalula, akulira ebyensimbi mu katale yagambye nti omuvubuka oyo bamusasula buli lunaku era omulimu akoze gwa ttendo nnyo. Wabula natudde ne nneetegereza awalala wonna ng'okunaaba mu ngalo baakuvaako.
WANDEGEYA OKUNAABA MU NGOLA KWA BBALIRIRWE: Akatale k'e Wandegeya kaazimbibwa bulungi era ke kamu ku businga okunyirira mu Kampala. Wano natutte ebbanga nga nneetegereza ku mulyango, era ekiseera eky'eddakiika nga 45, kye nnamazeewo, omuvubuka omu yekka ye yanaabye mu ngalo ng'ayingira. Nnayingidde munda mu katale ne nva ku mwaliro ogwa wansi ne nnyambuka ku guddako, ng'abasuubuzi n'abaguzi eby'okwambala masiki si bye baliko. Ekirungi nti abasuubuzi beesuddemu ku mabanga ne wankubadde nga bakasitoma bwe batuuka ate nga basemberegana nga tebeekuumye Corona.
E KASUBI BAVUNAANA BANNABYABUFUZI: Mu katale Kasubi, abasuubuzi ne bakasitoma tebambala masiki wadde okunaaba mu ngalo. Ekizibu ekirala, abasuubuzi bakyakolera emirimu gyabwe okumpi n'ekkubo. Mu budde naddala obw'okumakya, abantu bangi bakeera mu katale kano okugula ebintu naddala eby'oku kkubo wabula nga bonna tebeekuumye Corona. Ronald Zzibu, ssentebe w'akatale k'e Kasubi yakakasizza nti ebyokwerinda Corona abantu baabivaako dda.
Ono agamba nti edda nga buli muntu anaaba mu ngalo nga n'amabanga bageewa, naye kati tebakyabikola. Kino akissa ku bannabyabufuzi b'agamba nti bawuddiisa abantu ku bikwata ku Corona. "Abantu okuva ku mateeka kivudde ku bannabyabufuzi abababuzaabuza, bwe babayitamu nga bo tebazambadde nga nabo eby'okuzambala babivaako " Zzibu bwe yannyonnyodde.
NAKASERO BAALI BAKAMBWE KATI TEBAKYABIFAAKO: Mu biseera ebyasooka ebya Corona, ng'okuyingira mu katale e Nakasero basooka kukuwandiika linnya wamu n'okukuwa ennamba. Ekyewuunyisa nti kati okuyingira mu katale kano tewali kakwakkulizo konna.
Omulyango ogutunudde ku ludda lwa paaka enkadde tekuli wadde ekidomola eky'okunaaba mu ngalo. We banaabira wali wamu wokka newankubadde nga wenaabereddewo nalabyeeyo ku bantu abatonotono nga banaaba mu ngalo wabula nga zo masiki tebazambadde.
Bwe naatuukiridde abatwala akatale kano, baakalambidde nti amateeka ga Corona bagakutte. E Kamwokya, ng'oggyeeko okuba nti akatale kakaddiye nnyo, ebya Corona bano tebabiteeka mu nkola ne wankubadde nga ku miryango egiyingira mu katale kano ebikozesebwa mu kunaaba mu ngalo weebiri.
WABEEWO EKIKOLEBWA MU BWANGU: Gavumenti bweba eyagala okukuuma abantu nga tebakwatiddwa Corona, erina okuddamu okussa amateeka amakakali mu nkola, naddala mu bantu abakolera n'abagenda mu butale. Mu ngeri y'emu, ssente ezikebera Corona zandikendeezeddwaako, kisobozese buli eyeekengera obulamu bwe okwekebeza n'atandika okwejjanjaba ssinga aba amulina.