Okulonda kw'abakulembeze b'abasuubuzi mu katale k'e Wandegeya kuyiise abasuubuzi bwe bawakanyizza amateeka agabadde galina okugobererwa mu kulonda nga bagamba nti simalambulukufu.
Okutuuka okuva mu mbeera kiddiridde minisita Benny Namugwanya okubasomera amateeka agalina okugobererwa mu kulonda ng'omukozi wa gavumenti yenna takkirizibwa kuvuganya kyokka omu ku babadde bavuganya ku kifo kya ssentebe Mawejje Mutesaasira abadde ssentebe w'ekyalo kya Wandegeya zooni ekimugye mu lwokaano olwo abawagizi be ne bava mu mbeera.
Oluvannyuma minisita abasabye ateekebwe ku lukiiko kyokka n'oludda olulala olwa Ceasar Joseph nabo ne bakiwakanya era wano wabaddewo okusikang'ana ebitogi okukkakkana nga minisita okulonda akuwummuzza.
Ekizzeeko minisita Benny Namugwanya n'alangirira ng'olukiiko lwa KCCA bwe lweddizza okukulembera akatale kano okutuuka nga bamaze okukkaanya ku nnonda bwenaaba.