Monday, December 28, 2020

'Omukuumi wa Bobi Wine emmotoka ya miritale si ye yamusse'

'Omukuumi wa Bobi Wine emmotoka ya miritale si ye yamusse'

Eggye lya UPDF livuddeyo ne litangaaza nti Frank Senteza omukuumi wa Robert Kyagulanyi ow'ekibiina kya NUP yavudde ku mmotoka eyabadde etambula n'agwa naye teyatomeddwa mmotoka y'amagye nga bwe bibadde bigambibwa.


Omwogezi w'amagye Brig. Flavia Byekwaso bino yabitegeezezza mu kiwandiiko kye yafulumizizza, "Eggye lya UPDF lyagala okutangaaza nti omugenzi Senteza, teyatomeddwa mmotoka ya miritale naye yagudde ng'ava ku mmotoka eyabadde edduka ennyo eyabaddeko nnamba UBF 850z bwe yabadde agezaako okugibuukako."

Amagye gagambye nti emmotoka eno yeemu kw'ezo eziwerekerako Kyagulanyi ng'akola kampeyini ze.

Kyagulanyi bw'abadde abika Senteza yategeezezza nti yatomeddwa emmotoka ya miritale  nnamba H4DF 2382 eyabadde e Busega ng'ebagaana okuyitawo bwe baabadde batwala munnamawulire Ashraf Kasirye mu ddwaaliro e Lubaga.

Senteza afiiridde mu ddwaaliro e Rubaga nga baakatandika okumujjanjaba.
Tekitegeerekese oba mu kifo kino waliwo kkamera za CCTV eziyinza okubambako ku banoonyereza.


Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts