Thursday, December 24, 2020

Omusajja attottodde by'ayitamu

Omusajja attottodde by'ayitamu

MARTIN Kayanja ng'abeera Bungereza yakubidde Bukedde ssimu n'alombojja by'ayitamu okuva mukyala we, Beatrice lwe yasalawo okuyingira ebyobufuzi. Yattottodde bwati: Mukyala wange yasimbula okuva mu maka gaffe agasangibwa mu kibuga London ku ntandikwa ya March 2020.

Bwe yali akomawo mu Uganda saakimanya nti yalinamu entegeka ez'okuyingira mu byobufuzi era entegeka eyaliwo yali ya kujja alabe ku bazadde, atereeze n'ezimu ku bizinensi ze yali atandise mu Kampala, oluvannyuma akomewo mu maka.

Ebyembi, yali yaakatuuka mu Uganda, embeera y'obulwadde bwa Corona n'etabuka ne baggala ekisaawe ky'ennyonyi e Ntebe nga takyasobola kukomawo Bungereza. Beatrice yantegeeza nti oluvannyuma lwa Corona okumusibira mu Uganda, asazeewo agire nga yeemalira ku bizinensi zaffe eziri mu Uganda omuli n'eyeebibajje (crafts), kyokka n'ankakasa nti agenda kukomawo amangu ddala ng'ekisaawe ky'ennyonyi bakiggudde.

Martin Kayanja agamba nti okuva lwe baggulawo ekisaawe emyezi kati kumpi esatu, Beatrice talaga ntegeka yonna ya kuddayo Bungereza. Kyokka agattako nti eky'obutaddayo Bungereza mu bwangu osanga yandikigumidde, naye ekimuluma ye mukyala we ow'empeta okubeera ennyo ku lusegere lwa Mao nga kumpi buli Mao w'agenda, ne Beatrice agenderako.

Agamba nti ab'eng'anda n'abeemikwano bamukubira amasimu nga babuuza oba bakyali bonna ne Beatrice kubanga bamulaba nnyo ne Mao ekimuleetera okuwulira ng'ekitiibwa ky'obufumbo bwe obutukuvu bw'alimu ne Beatrice kiteekeddwa ku minzaani. Agamba nti abantu bangi bali mu by'obufuzi naye basigala nga bakkaanya n'abaagalwa baabwe kyokka alemeddwa okukkaanya ne Beatrice ku nsonga eno.

Mu kiseera kino Martin Kayanja agenda akung'aanya ebifaananyi bya Mao ne Beatrice era alina bingi bye yaweerezza Bukedde nga bali ku mikolo egy'enjawulo ng'agamba nti buli lw'abalaba nga batambula bombi ate ne batuuzibwa bombi ku mwanjo, omutima gumwennyika. "Mukyala wange Beatrice, nkusaba okomewo awaka ove mu kampeyini za Mao. Nze n'abaana "tukumiisinga" mu maka gano era tukwagala nnyo.

Komawo ontaase ku bibuuzo bye bambuuza nga ssirina "answer" yonna." Martin bwe yalaajanye mu bubaka bwe yaweerezza Bukedde ng'asinziira London. Yeebuuzizza lwaki Mao tatambula n'abakyala abalala abangi ennyo abali mu DP n'asalawo okutambula n'owuwe obudde bwonna!

Yagambye nti kati atya n'okugoberera ebigenda mu maaso mu kampeyini z'Obwapulezidenti mu Uganda kubanga abeera ali ku mikutu gya ttivvi za Uganda ng'alaba amawulire agafa mu kampeyini, kyokka olumu bwe bassaako Mao, agenda okulaba ng'era ali ne Beatrice, olwo otulo ne tumubula.

Yagambye nti olumu akubira Beatrice essimu n'agaana okugikwata era oluvannyuma n'amutegeeza nti takyabeera na budde abeera mu kampeyini. Yasabye omulanga gwe aguwunzike n'obubaka buno wammanga bw'ayagala butuuke ewa Mao: Munnange, Mao nkwegayiridde mukyala wange muwabule ave mu kampeyini zo adde eka mu bufumbo bwe. Tambulako n'abakyala abalala, owange osooke omulekemu ko.

Yaweerezza ne Beatrice obubaka ng'amusaba alondeko oba asigala mu bufumbo ne yeesonyiwa kampeyini oba asalewo okusigala mu byobufuzi. Bukedde bwe yatuukiridde Beatrice okwanukula ku bba by'ayogera, yagambye nti ensonga z'amakaage tasobola kuzinnyonnyolera mu mawulire; n'agattako nti nga ye omukyala eyakuzibwa, amanyi abantu abatuufu n'ebifo ebituufu, ensonga ezo gye zirina okugenda.

Beatrice yasooka kulaga ntegeka za kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya era Martini agamba nti Omusajja attottodde by'ayitamu nakyo baali tebakikkaanyizzaako kyokka oluvannyuma n'asalawo okukigumira. Yasooka kwagala kwesimbawo ku lulwe wabula oluvannyuma DP n'emuwa kkaadi.

Kyokka bwe yagenda okwewandiisa, akakiiko k'eby'okulonda ne kagaana okumuwandiika nga kagamba nti tali mu nkalala z'abalonzi. Kigambibwa nti okuwandiisa abalonzi kwaggwa Beatrice akyali Bungereza. DP oluvannyuma kkaadi ku kifo ekyo yagiwa munnakatemba Charles James Ssenkubuge.

Mao yayawukana ne mukyala we Naomi Achieng Odongo mu May wa 2019, kkooti y'amaka bwe yawulira omusango gw'okutulugunyizibwa Naomi gwe yawaaba. Wadde obujulizi bw'okutulugunyizibwa bwabula, waliwo ensonga endala ezaamatiza omulamuzi nti tebakyasobola kubeera bombi mu bufumbo n'abakkiriza baawukane mu bufumbo bwe baali bamazeemu emyaka 16.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts