Thursday, December 24, 2020

Poliisi ekkirizza okukwata Munnamateeka OpIo

Poliisi ekkirizza okukwata Munnamateeka OpIo

POLIISI yakakasizza okukwata munnamateeka Nicholas Opio ne bamuggalira ku SIU e Kireka ku misango egy'ekuusa ku kukukusa ensimbi. Nga bayita ku mukutu gwa twitter, poliisi yategeezezza nti ng'eri n'ebitongole by'ebyokwerinda ebirala, baakutte Opio nga beesigama ku bujulizi obwaleeteddwa ekitongole kya Financial Intelligence Authority obulaga nti Opio akukusa ensimbi.

Wabula munnamateeka Robert R. Amsterdam okuva e Bungereza ne Washington mu Amerika naye yawandiikidde palamenti ya Amerika akakiiko akakola ku nsonga z'ebweru w'eggwanga n'abasaba okubeerako kye bakola mu bwangu ku nsonga ezigenda mu maaso mu Uganda.

Amsterdam agamba nti Opio y'abadde akulembeddemu bannamateeka abanoonyereza ku bantu abattibwa nga November 18 ne 19 poliisi lwe yakwata Kyagulanyi ne bamuggalira e Nalufenya. Opio baamukutte ne bannamateeka abalala okuli: Herbert Dakasi, Anthony Odur, Esom Obure ne Hamid Tenywa.

Bano bonna bannamateeka abalwanirira eddembe ly'obuntu era Robert Kyagulanyi yatadde obubaka ku mukutu gwa ttwitter n'ategeeza nti we bwakeeredde ku Lwakusatu Opio ne banne baabadde tebannaba kuweebwa mukisa kwogerako ne bannamateeka baabwe wadde abooluganda.

Opio yakwatiddwa abantu abali mu ngoye ezaabulijjo okuva ku Lamaro Restaurant e Kamwokya ku Lwokubiri. Opio yaawolereza ebibiina by'obwannakyewa ebirina akawunti gavumenti ze yataddeko envumbo nga bagamba nti bawagira abatujju. Era Opio y'akulira ekibiina ky'obwannakyewa ekya Chapter Four Uganda.

Poliisi yategeezezza nti okunoonyereza kwabadde kukyagenda mu maaso era baakuvaayo okutegeeza eggwanga kye banabeera bazudde.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts