
ABATUUZE babuutikiddwa encukwe, bwe basanze omutaka ng'attiddwa mu bukambwe.
Ssaalongo Emmanuel Sserwadda 75 yatemeddwatemeddwa n'ejjambiya ezaamuttiddewo ng'omulambo gusangiddwa mu mulyango gw'ennyumba ye.
Ebyembi n'omulambo gwa mwannyina gukyaliyo mu ggwanika ly'eddwaaliro e Villamaria gye yafiiridde. Ettemu lino likoleddwa ku kyalo Kikonda e Lwanswera mu Kalungu.
Bakyala ba Sserwadda n'abaana baabwe gattako abatuuze amaziga gabayitamu beebuuza engeri ebyenfuna bwe bittisizza Sserwadda.