Tuesday, December 1, 2020

Owa Bukedde bamwanjudde mu sitayiro e Luweero

Owa Bukedde bamwanjudde mu sitayiro e Luweero

ZAABADDE essaawa 6:50 ez'omu ttuntu ku Ssande ng'akasana keememula, Semei Wessaali n'abaamuwerekeddeko ne bayingira mu luggya lwa bakadde ba Agnes Nambi.

Ku ssaawa 8:30, emikolo gy'okwanjula egy'obuwangwa mu nju gyabadde giwedde,
olwo nga Wessaali afuuse omuko omujjuvu mu luggya lw'omugenzi Sensero
Ddamulira, azaala Nambi.

Ekyaddiridde kwabadde kulya n'okunywa. Ku ssaawa 10:00 ez'olweggulo, Agnes yafulumye ng'akulembeddwa omuyimbi Irene Namatovu olwo enduulu n'esaanikira
ekifo gattako engalo obwedda ebigendera ku nnyimba nga ne Agnes bw'ayimba
n'okubiibya.

Mu kiseera kino ne minisita w'ebyenjigiriza ebisookerwako, Rosemary Nansubuga
Sseninde we yatuukidde n'atuula okumpi ne Wessaali.

Nambi Ng'ayita Wakati Mu Baganda Be Abaamukoledde Ekiyitirirwa.

Wessaali ye mumyuka w'atuukirwako amawulire mu Bukedde olupapula. Era yaliko atuukirwako amawulire Agataliiko nfuufu aga Bukedde Ttivvi.

Minisita Sseninde yayogedde ku Wessaali ng'omusajja omuntumulamu, omukozi, alimu eddiini era n'agumya Nambi nti afunye omusajja omutuufu.

Omukolo gwawedde ku ssaawa 12:00 ez'akawungeezi olwo buli eyawerekedde ku
Semei n'aweebwa entanda ey'ekijjukizo ky'omukolo guno.

Baakugattibwa ku Lwokuna luno nga December 3, mu kkanisa y'Abadiventi e
Kireka. Frank Walusimbi owa NTV ye yabadde kalabaalaba wa Wessaali.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts