
OMUKAZI bamukwatidde mu bikwekweto bya kafiyu ne yeegayirira poliisi okumusonyiwa ng'agamba nti nnakawere alina omwana gwayonsa gwe yalese awaka.

Ekikwekweto kino kyakoleddwa poliisi ya Jinja Road nga bali n'abajaasi nga baakulembeddwamu Siperato Bainomugisha mu kaweefube w'okuteeka mu nkola ebiragiro bya Pulezidenti ebyokuziyiza ekirwadde kya Senyigga omukambwe.
Ebikwekweto bino byayindidde mu bitundu bya Bugoloobi, Mbuya ne Mutungo nga bagenda baaza bbaala zonna ezaabadde ziguddewo wamu n'abantu abaabadde bakyatambula ng'ate essaawa ziyise mu 3:00 ez'ekiro. Kyokka abamu ku bantu obwedda bwe balengera kabangali ya poliisi nga badduka.

E Mutungo baakutte abagoba ba boodabooda be baasanze mu kkubo n'omukazi eyasoose okwewozaako ng'agamba nti nnakawere. Yasoose n'alemerako ng'agamba nti tasobola kulinnya kabangali ne bamuteerewo akatebe alinnyireko. Kigambibwa nti oluvannyuma yateereddwa.

Abaabadde mu bbaala ya Twins e Mutungo bwe baawulidde abaserikale ne baggalawo omulyango oguyingira kyokka Bainomugisha n'abakaka okuggulawo era obwedda babakukunula mu busenge mwe baabadde beekwese n'okunywera omwenge.
Abantu bonna abakwatiddwa baatwaliddwa ku poliisi ya Jinja Road nga bavunaanibwa okujjeemera ebiragiro bya Pulezidenti ne minisitule y'eby'obulamu.