Thursday, December 24, 2020

Bw'oyinza okukola ekivvulu ky'essanyu lya Ssekukkulu awaka wo

Bw'oyinza okukola ekivvulu ky'essanyu lya Ssekukkulu awaka wo

SSEKUKKULU y'omwaka guno tegenda kubaako bivvulu by'abayimbi, bidongo wadde ebidduluza, ekitegeeza nti famire ze zirina okwekolera essanyu eryazo nga zeetegekera ebivvulu mu maka nga bwe mubeeramu ne musanyusagana.

Bamaama awaka mmwe mutandikirwako essanyu ne libuna amaka gonna ne lituuka ne ku muliraano.

Kino kyetaagamu okwetegeka okumanya nti mmwe abali awaka musobola okutondawo essanyu eryammwe ne mutagula ligule mu bivvulu by'abayimbi. Bino wammanga bye bimu ku bintu famire ze bisobola okukola essanyu lya Ssekukkulu ne libugaana awaka.

Teo Nsereko nnaabakyala e Nakulabye alaze obumu kubukodyo bw'oyinza okukozesa n'osigala nga Ssekukkulu oginyumiddwa wadde tovudde mu maka go kugenda kunoonya ssanyu walala. Okuyooyoota awaka nga muli wamu: Abantu abasinga banyumirwa okubeera awantu nga watimbiddwa bulungi olwo ne batandika okwekubya ebifaananyi ekireeta essanyu n'omukwano eri abaawaka.

Teo Nsereko.

Mwenna mukwatire wamu, mutimbe mu ngeri ey'enjawulo Ebirabo: Mutegekeewo ssente ezigula ebirabo buli muntu agulire munne ekirabo mu kyama akisabike obulungi olwo mufuneyo akadde akeegabira ebirabo bino n'okulaba buli omu ky'agulidde munne.

Bannyinimu muyinza n'okutegeka obuzannyo ne mubaako ebirabo bye mukukulira ng'abinoonya n'abizuula y'abitwala. Okukola ebijjukizo: Muyinza okukola ekijjukizo kya Ssekukkulu ya COVID eno okugeza nga muyiiyaayo oluyimba oba akazannyo ne mukwata vidiyo mwenna mu maka nga muyimba oba nga muzannya obuzannyo nga ku mazaalibwa ga Yesu, oba ennyimba n'emizannyo egyammwe gye mweyiiyirizza.

Muyinza okukola empaka za kaliyoki oba ennyimba z'eddiini, empaka z'amazina n'ebirala era ne mukwata obutambi ne muweereza mu beng'anda zammwe nabo ne banyumirwa nga bwe babaweereza ebyabwe. Muyinza okubaako ekintu ekirala kye mukola awaka naye nga kya kijjukizo ekijja okubajjukizanga Ssekukkulu eno eyaliibwa mu mbeera ey'obugubi.

Ennyambala; bw'oyogera ekigambo Ssekukkulu abantu abasinga naddala abakyala basooka kulowooza ku nnyambala. Ku mulundi guno abantu abasinga baavu era mu mbeera eno ojja kwesanga ng'omuntu talina nsimbi zaakugulamu lugoye naye musobola okuyiiyiza ku ze mulina ne muzikyusakyusa.

Bw'oyinza okukola ekivvulu ky'essanyu lya Ssekukkulu awaka wo Muyinza n'okukola omwoleso gw'emisono awaka wammwe mu ngoye zammwe ezo ze mulina nga muzifuulafuula.

Ebyendya. Okwokya emisito gy'ennyama n'enkoko akawungeezi awo nga bwe munywa n'okulya nga n'ebisanyusa bye mwategese bwe bigenda mu maaso kiyinza okubawa essanyu lye mwaludde okulaba.

Josephine Kasaato akulira Mothers' Union agamba nti omuntu yenna ekitono ky'obeera olina n'okiraga banno era n'okibategeeza so si ggwe kwekambuwaza na kwesunguusula olw'okuba tolina kubanga kino kireetawo enjawukana mu ffamire.

Agamba nti abantu bo bayingize butereevu mu pulogulaamu zo era mukole mwenna embalirira okusinziira ku ekyo ky'obeera olina. Tosuubira kugula nkoko ng'ate ssente z'olina zisobola kugula mukene. Abantu bo bannyonnyole nti eno embeera si bwetyo bwe yali, omwana asaana n'amanye nti olunaku luno terutegeeza kulya na kunywa nnyo wabula birina okubeera eby'ekigero kubanga bwe biyitirira ate a bifuuka bya bulabe.

Agamba nti, ebyo byonna bibeerawo naye abaana tubalage obukulu bw'omwana wa Katonda Yesu. Si kirungi abaana oba abaffamire yo okubalekawo ate ggwe taata oba omuzadde n'ogenda olya ebirungi nga bo obalese bbali nga tebalina. Kkiriza obeerewo n'abantu bo kyongere okubagumya so si kubasindikira bantu balala nga abenganda zaabwe.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts