Tuesday, December 8, 2020

Pulezidenti alonde ssentebe w'akakiiko k'eddembe ly'obuntu'

Pulezidenti alonde ssentebe w'akakiiko k'eddembe ly'obuntu'

BANNAMATEEKA batadde akazito ku gavumenti eronde ssentebe w'akakiiko k'eddembe ly'obuntu (Uganda Human Rights Commission) omujjuvu ng'amateeka bwe galagira.

Nalukoola, Kakeeto Advocates and Solicitors, be bawandiikidde Ssaabawolereza wa Gavumenti, William Byaruhanga okumujjukiza nti gugenda kuwera mwaka ng'akakiiko tekalina ssentebe mujjuvu.

Munnamateeka Erias Luyimbaazi Nalukoola era munnamateeka w'ekibiina kya DP mu Uganda, yaatadde omukono ku bbaluwa eno.m "Ng'omuntu akkiririza mu nfuga ey'amateeka, demokulasiya n'enkola ezirambikibwa Ssemateeka, nkuwandiikira okukujjukiza obuvunaanyizibwa bwo nga bwe bulambikibwa mu nnyingo 119(3)" Nalukoola bw'aggumiza.

Akakiiko k'eddembe ly'obuntu kaatondebwawo mu nnyingo 51 mu Ssemateeka wa Uganda okunoonyereza ku bikolwa ebityoboola eddembe ly'obuntu.

Kati gugenda kuwera mwaka okuva Medi Kaggwa eyali ssentebe w'akakiiko kano afa, kino kizing'amya emirimu gy'akakiiko nga bwe girambikibwa mu ssemateeka.

Ekiseera kino ebyokulonda birimu effujjo lingi kyokka teriyinza kukolebwako kakiiko kubanga tekajjudde. "Ekiwandiisizza ebbaluwa eno kwekukujjukiza ofiisi yo ewabula pulezidenti wa Uganda alonde ssentebe w'akakiiko kano ajjuze ekifo ekyo" ebbaluwa ya Nalukoola bw'egamba.

Eyali sentebe w'akakiiko Kaggwa yafa November 20, 2020 era mu kiseera kino Dr. Katebalirwe Ammoti Wa Irumba y'akola nga ssentebe w'akakiiko.

Ebbaluwa eno yatuuse mu ofiisi ya Ssaabawolereza wa gavumenti ku Mmande kyokka  Nalukoola akyalinda kuddibwamu. Yawaddeko Sipiika wa Palamenti kkopi, Ofiisi ya Katikkiro wa Uganda ne Ssaabalamuzi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts