Rev. Efulayimu Lubowa atabukidde bannabyabufuzi aberemeza mu buyinza ne batandika okutulugunya bannaabwe abeesimbyewo ssaako okutta abantu. Abasabye beekwase Katonda beekube mu mitima gyabwe baleme kutta bantu ba Katonda. Bino Rev. Lubowa abyogeredde mu Kkanisa ya St.Peter's Church e Gganda-Nsumbi bw'abadde abatiza abaana.
Source