Saturday, December 26, 2020

Temukkiriza kulonda kubeeramu ddukadduka n'okuyiwa omusaayi

Temukkiriza kulonda kubeeramu ddukadduka n'okuyiwa omusaayi

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye gavumenti okulaba ng'okulonda kwa 2021 tekubeeramu ddukadduka n'okuyiwa omusaayi ekintu kye yagambye nti kyakuwonya Uganda erinnya ebbi ery'obutabeerangako na kulonda kutaliimu busambattuko!

Katikkiro ne mukyala we mu kusaba.

Bino yabyogeredde mu kusaba kw'Amazaalibwa ga Yesu Kristu ku Klezia y'e Lweza n'agamba nti obulamu bw'abantu kikulu obutasaanye kumala gasanyizibwawo olwa vvaawompitewo ow'obululu.

"Tulina okwebuuza lwaki okulonda mu Uganda kubeeramu obusambattuko,ffe abalonda ffekka mu nsi? E Ghana baalonze,wafuddeyo abantu bataano naye nebatya nnyo. Wano mu Uganda abantu bayitirivu abafudde,okufuuyirwa omukka ogubalagala ate abalala bali mu makkomera naye batugamba nti babataasa kukwatibwa ssenyiga Corona. Kati twebuuza,ekigendererwa kyakutangira ssenyiga oba kulemesa bavuganya," Mayiga bwe yeebuzizza.

Yayongedde n'awa ebyabadde mu kulonda kwa Amerika eri abantu abangi abafudde obulwadde bwa Corona kyokka teriiyo bantu baakubiddwa miggo,okuttibwa amasasi n'ebirala olw'okuba babagumbulula olw'okutangira okusaasaana kwa Corona wabula ng'obukulembeze mu kitundu bubadde bukubiriza abantu okugoberera emitendera egiweebwa abakugu mu by'obulamu.

Okusaba kuno kwakulembeddwamu Bwannamukulu w'ekiggo ky'e Lweza mu munisipaali y'e Makindye Ssaabagabo mu Wakiso eyasabye abantu obutaggwaamu ssuubi mu mbeera ey'okusoomoozebwa gye bayitamu ensangi zino.

Katikkiro Mayiga yayongedde n'awa Bannabyabufuzi amagezi okukomya okutwala eby'obufuzi ng'omuzannyo wabula enteekateeka egenderera okunogera ebizibu ebiruma abantu,eddagala n'okubatuusa ku nkulaakulana ey'omuggundu.

Mayiga era yayongedde okukubiriza abantu okwenyigira mu bungi okulonda abakulembeze nga  January 14,2021 mu kulonda Pulezidenti n'ababaka ba Palamenti n'okulala okunnaddirira.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts