Thursday, December 24, 2020

Sarah Nkonge asekeredde ababadde babungeesa eng'ambo nti yavudde mu lwokaano

Sarah Nkonge asekeredde ababadde babungeesa eng'ambo nti yavudde mu lwokaano

Bya FLORENCE TUMUPENDE

Dr. Sarah Muwonge yeebazizza omutonzi eyamusimattula okufa bwe yagwa ku kabenje mu bitundu by'e Kayabwe - Mpigi ku ntandikwa y'omwezi guno bw'atyo n'ayagaliza Bannalwengo okuyita obulungi mu nnaku zino enkulu ate n'okulonda kubabeerere kwamazima.

Ono annyumiza akabenje ng'olutabaalo bw'agambye nti yakoma okutegeera nga waliwo emmotoka kika kya Premio eyabatambulirangako okuva mu makaage agasangibwa e Kiwangala ng'adda e Kampala era nga mu mmotoka yalimu ne mutabani we Viane Mugwanyi.

"Nze Viane yang'amba nti lwaki emmotoka eno twavudde nayo mu kyalo naye n'okutuusa kati ekyatulemedeko nze n'aseka ne mbitwala nga eby'obuto naye ekyamazima emmotoka eyo ye yacankalanya ddereeva wange ne tugwa ku kabenje ate yo n'ekyusa n'eddayo emabega," Dr nkonge bwe yategeezezza.

Yadde ng'ebigambo ebyogerwa nti yavudde mu kalulu olw'akabenje akamutuusibwako abisambaze n'agamba nti ekigo ekimu tekirobera mwana kuyimba era okufuna ekitiibwa kya dokita bingi by'ayiseemu ebisingako wano.

Ono avumaganya n'omubaka Cissy Namujju Dionizia akutte kaadi ya NRM, Christin Namuyanja owa DP awamu ne Elizabeth Nakasagga owa NUP.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts