Monday, December 21, 2020

Ssente kati ziri mu kukola ngatto z'abasajja

Ssente kati ziri mu kukola ngatto z'abasajja

"NNAVA mu ssomero ku myaka 18 oluvannyuma lw'okufuna olubuto bazadde bange ne bangoba awaka kwe kutandika okupakasa nsobole okwebeezaawo.
Nazaalira mu mbeera embi ddala ne nzirayo ewaffe naye era ne bang'aana. Kyokka bwe nnava mu bwannakawere ne ntandika okunyiriramu, nafuna omusajja omulala gwe nnalowooza nti asobola okukyusa obulamu bwange, olwabeerako naye era lwali lubuto kyokka naye n'andekawo.
Nnaweekanga omwana ne mpakasa nga nnima, ne njoza engoye n'okutwalayo kasasiro w'abantu ku kyalo okutuusa lwe nnafuna ekitongole kya Mild May abannyamba ne bambudaabuda ne banjigiriza okukola engatto ekinnyambye okweggya mu bwavu. " Irene Katiira ow'e Ntebe Kigungu bwatyo bw'agamba.
Ayongerako nti bwe baamala okusoma, ne beekolamu ekibiina kya bamaama bataano ne batandika okukola engatto.
Era nga buli wiiki tukola emigogo gy'engatto 15 ekitegeeza nga buli mmemba afulumya emigogo gy'engatto esatu buli wiiki nga buli mugogo tugusaasaanyizaako 15,000/- ku 20,000/- kubanga mubaamu matiiriyo gwe tukozesa okukola engatto zino lw'alinnya ssente ne zeeyongeramu.
Bwe tutuuka okutunda, omugogo gw'engatto ogumu tugutunda wakati wa 25,000/- oba 35,000/- okusinziira ku ssente ze tuba twataddemu.
BYE WEETAAGA OKUKOLA EMIGOGO GY'ENGATTO Z'ABASAJJA 15
􀁳 Bbako ennene ezisiba ekigere ya 1,000/- buli mugogo ze 15,000/-
􀁳 Eddiba lye balinnyako mmita emu, ya 26,000/-
􀁳 Layiningi mmita emu ya 20,000/-
􀁳 Soole eya wansi eya labba, mmita emu ya 38,000/-.
􀁳 Gaamu, akadomola ku 60,000/-.
􀁳 Ebyetaago ebirala bimalawo 66,000/-.
Okutwaliza awamu tukozesa 225,000/- okukola emigogo gy'engatto 15.
OFUNIRAMU WA?
Bwe tuba twataddemu 15,000/- okukola omugogo gw'engatto ogumu kitegeeza nti, emigogo gy'engatto 15 oteekamu 225,000/-
Buli mugogo tugutunda ku 25,000/-, ne tuggyamu 375,000/-.
Bwe tuggyako ze twataddemu 225,000/- tuba tukola amagoba ga 150,000/- buli wiiki.
Ezange ngulako emmere y'abaana n'ebyetaago ebirala ne nsasulako ne wensula.
Kati nsobola okwebeezaawo era ndi mugumu kubanga kati nnina omulimu gwe nkola. Nsobola okulabirira abaana bange era ssente ze ntereka bwe ziwera njagala kuzimbira baana bange.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts