Monday, December 21, 2020

Museveni akomyewo na maanyi mu Buganda

Museveni akomyewo na maanyi mu Buganda

OLWALEERO Pulezidenti Museveni azzeemu okuyingira ebitundu bya Buganda ng'anoonya obululu bw'okumuzza mu ntebe wakati mu ba NRM okuwaga nti ‘Buganda
ya Museveni'.

Leero Pulezidenti waakubeera Mubende gyagenda okusisinkanira abakulembeze b'ekibiina okuva e Kyankwanzi, Kiboga, Kassanda ne Mityana.

Ku Lwokubiri waakubeera Mpigi asisinkane abakulembeze okuva e Butambala ne Gomba.

Ku Lwokusatu nga December 23, waakubeera Masaka City gy'ajja okusisinkanira abanaava mu disitulikiti mwenda ezeetooloddewo.

Ku Lwokuna nga December 24 agenda Rakai ab'e Kyotera ne Lyatonde gye bamulindiridde n'essanyu.

Oluvannyuma Pulezidenti ajja kuwummulamu mu ggandaalo lya Ssekukkulu.
Nga December 28, Museveni waakubeera Mukono awagenda okukungaanira ab'e Kayunga, Buikwe ne Buvuma. Enkeera nga 29, waakubeera Wakiso asisinkane
abakulembeze okuva mu munisipaali ennya ne konsitityuwensi essatu ezikola disitulikiti.

December 30 ne 31, Museveni waakubeera mu Kampala ng'eno Kiwanda yasuubizza okwongera okulambulula enteekateeka yaayo mu bujjuvu gye bujja.

Godfrey Kiwanda amyuka ssentebe wa NRM atwala Buganda yagambye nti mukakafu nti Museveni agenda kuwangula ekitundu kya Buganda n'ebitundu 75 ku buli 100 mu kaweefube gwe baatuuma ‘Buganda for Museveni' ekitegeeza nti Buganda ewagira Museveni.

Bukya kulonda Pulezidenti kuddamu mu 1996, Museveni talemwangako kuwangula Buganda mu kulonda kwonna okw'emirundi etaano okuzze kubaawo.

Kiwanda yagambye nti ku beesimbyewo Museveni yekka y'ayogera ensonga ezikwata ku bantu obutereevu era n'alaga n'engeri gyagenda okumalawo ebizibu.
"Kizibu nnyo abantu ba Buganda okubaggya ku Museveni kuba omukwano gwabwe
gwaviira ddala mu lutalo olwaleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza era bamanyi
bulungi engeri gye yabawonya ddukadduka." bwe yagambye.

Pulezidenti bwe yakwata obuyinza teyabeefuulira kuba yasobola okuzzaawo Obwakabaka era ng'azze addiza Buganda ebyayo omuli ettaka, embuga z'amasaza, amagombolola era Obuganda buladde.

Abawagizi Ba Museveni Nga Bawaga.

Ekibiina kya NRM kye kirina obukulembeze bw'abantu 30 ku buli kyalo n'abakulembeze era ng'abamu baayitawo dda nga tebavuganyiziddwa.

Yawadde ekyokulabirako ky'ababaka Ssemwanga Gyaviira ow'e Buyamba
ne Enock Nyongere owa Nakaseke North.

Enkulaakulana y'ebibuga ebimeruka mu Buganda, amalwaliro n'amasomero agazimbiddwa ku mulembe gwa Museveni abantu babiraba era si kyangu kuwuguka
na muyaga gwa byabufuzi.

Obuwanguzi obwatuukibwako ekibiina kya NRM mu kulonda kw'abavubuka gye buvuddeko n'obuwanguzi obulala mu bukiiko bw'abakyala n'obw'ebyalo byonna bikakasa bulungi nti Museveni ne NRM bakyali baganzi mu Buganda.

ABE BUGWANJUBA ALESE BAKKIRIZZA
Museveni yavudde Bunyoro mu Bugwanjuba nga tannaba kukomawo mu Buganda gye yatandikira kampeyini mu disitulikiti y'e Nakaseke.

E Hoima gye yafundiikiridde gye yasisinkanidde abakulembeze okuva e Masindi, Kiryadongo, Buliisa, Kikuube ne Hoima City ng'ensisinkano eno yabadde ku
kisaawe kya Duhaga e Hoima.

Abakulembeze ba NRM baayanjulidde Pulezidenti abadde akulira ekibiina kya NUP e Bunyoro. Godwin Angaria eyasaze eddiiro ne yeegatta ku NRM oluvannyuma
lw'okulaba omusana.

Dr. Chris Baryomunsi amyuka ssentebe wa NRM atwala obugwanjuba yakakasizza Pulezidenti nga bwe batayinza kukombya ku NUP wadde FDC bululu kuba
bamanyi bulungi gy'abaggye era ne gye balaga balabayo.

ABE BUSHENYI BEEKOZEEMU OMULIMU
Abavubuka mu disitulikiti y'e Bushenyi abeegattira mu kibiina kya Scrap Dealers abakulirwa Hajat Joweria Nakanwagi baatongozza kaweefube w'okunoonyeza
Pulezidenti Museveni obululu nju ku nju okwetooloola disitulikiti y'e Bushenyi, Mitooma, Rubiriizi, Sheema ne Buhweju.

Kye bagenda okutandikirako kwe kuperereza bannaabwe abaali beegasse ku NUP ne
FDC okukomawo kuba Pulezidenti yabalaze nga bw'agenda okwongera okutondawo emirimu n'okubatuusaako obuweereza obulungi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts