Wednesday, December 23, 2020

Taata atemye abaana be ng'atamidde

Taata atemye abaana be ng'atamidde

ABATUUZE batabukidde munnaabwe nga bamulanga okutemaatema abaana be ng'abalanga okulwawo okumuggulira ekiro ng'ava mu kirabo ate ebyembi enkeera n'aleka ng'abasibidde mu nju bataawa.

Moses Oketcho ye yakoze bino era naye n'akwatibwa. Bino byabadde ku kyalo Kizigo mu Divizoni y'e Najjembe mu munisipaali y'e Lugazi mu disitulikiti y'e Buikwe.
Kigambibwa nti Oketcho yakomyewo ekiro ng'atamidde n'akonkona.

Abaana baaluddewo okumuggulira, bwe yayingidde ng'okubabonereza kwe kubatemaatema ate bwe bwakedde n'abasibira mu nju n'addayo okunywa omwenge.
Kigambibwa nti enkeera bwe yazze mu kirabo okunywa, bwe gwamukutte n'atandika okwogera ebitakwatagana banne ne beekengera era kwe kutuuka ewuwe gye baasanze abaana nga bataawa.

Bwe baababuuzizza kye babadde, kwe kutegeeza nti kitaabwe ye yabatemye ekiro. Wano abatuuze we baamutabukiridde ne bamukuba era mu kutaawa ne bamutwala mu ddwaaliro lya St. Charles Lwanga Buikwe.

Ssentebe Zaabadda N'omwana Kasozi.

Omeni N'ekisago.

Bwe baamutuusizzaayo n'ayagala okudduka, ne bayita poliisi eyazze n'emussa ku mpingu.

Abaana abaalumiziddwa kuliko: Ronaldo Kasozi (9) ne Wilson Omeni (8). Bano baagambye nti kitaabwe yasooka kubaggya waka ennaku ezo n'abatwala ewa jjajjaabwe Irene Namaganda ku kyalo Buvuma ekiriraanye Kizigo.

Baagambye nti wabula eyo baddukayo nga jjajja talina ky'abaliisa basiiba njala waakiri ne basalawo badde ewa kitaabwe kuba yo waakiri olumu abafunira ku ky'okulya.
Kasozi agamba nti kitaabwe bwe yabasanga bakomyewo okuva e Buvuma n'ababuuza eyabalagidde okudda ne bamunnyonnyola era mu busungu kwe kubalekawo n'agenda anywe.

Baategeezezza nti okubatuusaako obulabe, ekisaanikira kye sseffuliya ezaakazibwako ‘Bolingo' kye yabatemesezza.

Ssentebe wa LC II ow'omuluka Kizigo, Paulo Zaabadda yagambye nti abatuuze baabadde banyiivu olw'ekikolwa kya munnaabwe nabo kwe kumukuba.

Abasawo baagambye nti omu ku baana yafunye olubale lunene nga singa yayongedde okulwisibwayo yandivuddemu omusaayi mungi.
Poliisi yakoze fayiro ku nsonga eno.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts