
ABANTU 7 be bafudde obulwadde bwa Covid-19 ate 489 be basangiddwa n'akawuka kano okusinziira ku minisitule y'ebyobulamu.
"Abantu bano bakebeddwa obulwadde bwa Covid 11 nga December 22, 2020 era abantu 489 ne bakakasibwa okuba n'obulwadde buno.
Kati abaakakwatibwa obulwadde buno ne bawera 32, 399," okusinziira ku minisitule y'ebyobulamu.
Abalwadde bayimiridde bwe bati ; Kampala (334), Wakiso (98), Jinja (9), Luweero (6), Kabarole (6), Ibanda (5), Masaka (4), Isingiro (4), Kyotera (5), Ntoroko (3), Busia (2), Mbale (2), Oyam (1), Soroti (1), Mbarara (1), Moroto (1), Moyo (1), Kibuku (3), Gulu (1). Abavuzi ba lukululana babiri be baasangiddwa n'obulwadde e Malaba, minisitule bw'egambye..