UGANDA esabye amawanga ag'Obusiraamu obutasuulirira Yunivasite ya Islamic University In Uganda IUIU, kubanga abazadde tebalina ssente kusasula ffiizi zimala kutambuza ttendekero lino.
Bino byayogeddwa minisita omubeezi w'ensonga z'amawanga g'ebweru, Henry Okello Oryem mu lukuhhaanna lwa baminisita olw'omulundi owa 47 olugatta amawanga g'Abasiraamu olwatudde mu kibuga Niamey e Niger wansi w'omulamwa gw'okulwanyisa ebikolwa ebyobutujju mu mawanga g'Abasiraamu.
Minisita yategeezezza nti Yunivasite eno ebadde eweebwa akakadde ka ddoola buli mwaka kyokka gye buvuddeko ekibiina kya OIC kyali kiyimirizza enteekateeka eno nga kigamba nti fiizi abayizi ze bawa zisobola okutambuza yunivasite minisita kye yawakanyizza.
Mu kiseera kye kimu abadde akulira Yunivasite eno, Dr . Ahmed Sengendo Kaweesa aweereddwa omulimu omulala ogw'obumyuka bwa ssaabawandiisi mu kibiina ekigatta amawanga g'Abasiraamu ekya OIC ekituula e Jeddah mu Saudi Arabia. Olukung'aana luno lwetabiddwaamu baminisita okuva mu mawanga 57.