Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe. (Ebif bya Abu Batuusa)
Kino kiddiridde okusanga omulambo gw'omukyala ateeberezebwa okuba ng'abaamusse mu bukambwe basoose kumusobyako n'oluvannyuma ne bamusiba mu kkutiya ne bamusuula ku mabbali g'oluguudo.
Kino kitiisizza abatuuze ne balowooza oba ekitta bakazi kizzeemu mu Nansana nga bwe kyaliwo emabega mu bitundu by'e Ntebe.