Tuesday, January 26, 2021

Ab' e Ntebe beekalakaasizza olwa NRM okuwangulwa, 3 bakubiddwa amasasi, omu mufu

Ab' e Ntebe beekalakaasizza olwa NRM okuwangulwa, 3 bakubiddwa amasasi, omu mufu

Embeera mu kibuga ky'e Ntebe  etabuse oluvannyuma lw'o kulangirira Fabrice Rurinda eyajja nga talina kibiina mwajjidde, nga Meeya w'e Ntebe omulonde.

Abalonzi ng'abasinga ba NRM bagamba nti tebayinza kukkiriza Fabrice kubakulembera kubanga bbo bakimanyi nti yabadde waakuna kyokka bugenze okukya ng' alangiriddwa ku buwanguzi. 

Bano basazeewo okwekalakaasa ku makya ga leero era abantu basatu ne bakubwa amasasi ekivuddeko omu amanyidwa nga Eric Kyeyune okufa era ng'ono abadde muwagizi wa NRM .

      Eric Kyeyune Attiddwa.

Jesca Kankunda Ng'agezaako Okukkakkanya Embeera.

Okuvuganya okw'amaanyi kubadde wakati wa Micheal Mutebi owa NRM ne Kayanja Vincent DePaul nga Ono ye Meeya aliko nga wa kibiina kya DP era we bwazibidde nga Kayanja yali waggulu.

Jesca Kankunda okuva mu state house azze okukkakkanya abawagizi ba NRM n'agamba nti bagenda kulangirira omuntu omutuufu era nti omukulembeze w'eggwanga ayingidde mu nsonga eno .

Ono agambye nti akulembeddemu okukuba amasasi waakuvunaanibwa ng' omuntu naye n'asaasira abafiiriddwa omuntu waabwe .

Ye akulira poliisi y'e Ntebe, Kasigire Micheal agambye nti baliwo kukuuma mirembe n'agattako  nti embeera eno ebadde esobola okukkakkanyizibwa nga tebakozeseza wadde ttiyaggaasi .

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts