Bya Emmanuel Ssebanenya
Geoffrey Kayemba Ssolo omubaka omulonde owa Bukomansimbi South agambye nti mwetegefu okuweereza abantu abaamulonze okulaba nga tabajuza.
Ono yazze mu kifo ky'omubaka Deogratious Kiyingi gwabadde avuganya naye. Kyokka ku bamugamba nti okwesimbawo abadde anoonya mulimu, Kayemba yategeezezza nti ye abadde tanoonya mulimu wadde ssente kubanga byonna abirina ng'ayagala kuweereza bantu n'okukulaakulanya ekitundu gye bamuzaala.
Nze nnina emirimu gyange eginsasula obulungi era ndi maneja w'abayimbi Rema Namakula ne Chris Evans. Mu kiseera kye kimu ndi kittunzi w'abasambi b'omupiira mu Uganda n'ensi z'ebweru mwenfuna ssente eziwerera ddala.