Gumirason Kizito ne Rehema Mbatudde aba NRM be baalondeddwa okukiikirira abavubuka ku disitulikiti. Gabriel Busagwa naye owa NRM yawangudde ekya kansala omusajja akiikirira abaliko obulemu.
Ebifo ebirala okwabadde ekya kansala omukazi n'abakiikirira abakadde aba NRM baayiseemu tebavuganyiziddwa.
Amawulire gano gaasnyusizza aba NRM ne bagamba nti era kale.
Omanyi mu kulonda kwa Pulezidenti disitulikiti yawangulwa Robert Kyagulanyi owa NUP n'afuna n'ababaka basatu.
Bwe kyatuuse mu kulonda kwa disitulikiti aba NUP era beeriisizza nkuuli.