Thursday, January 28, 2021

Emivuyo mu kalulu k'abavubuka

Emivuyo mu kalulu k'abavubuka

OKULONDA kw'abavubuka n'abakozi kwetabiseemu obuvuyo ng'entabwe eva ku ssente n'okwerumiriza okwagala okubba obululu.

E Wakiso abavubuka ba NRM baasoose kuzira kulonda nga bagamba nti basooke basasulwe ensako yaabwe eyabadde ebasuubiziddwa. Kyokka oluvannyuma Happy Bagenda ne Vicky Kyomuhendo baaleese ssente ne basasula olwo ne balyoka balonda ku ssaawa 9:00 ez'olweggulo.

Kyokka obwedda ab'ebibiina ebirala balonda nga bwe bagamba nti bo bali ku mwoyo gwa ggwanga. Baakung'anidde ku KR Gardens e Buyera mu Wakiso. We twagendedde mu kyapa ng'okulonda kuwedde, kyokka nga tebannaba kulangirira muwanguzi.

Abaavuganyizza kwabaddeko; Ibrahim Kazibwe owa NRM, Hamidu Kigozi atalina kibiina, Mark Ssenyonga owa DP ne Micheal Kironde atalina kibiina.

Ku bakkansala abakyala abakiikirira abavubuka, kwabaddeko Vicky Kyomuhendo owa NRM ne Amanda Kagera owa DP.

ABAKADDE BALONZE BULUNGI MU KAMPALA
Okulonda bakkansala abakiikirira abakadde ku KCCA mu Kampala kwakomekkerezeddwa ng'owa NRM James Mukooza y'awangudde banne n'obululu 13, Juma Bbosa n'afuna 7 ate Peter Mayanja yafunye 5.

Lazaro Majara (akutte Omuggo) Eyalondeddwa

Abakuumaddembe Nga Balagira Abavubuka E Buyera   Wakiso Okutereera Mu Layini.

Okulonda kwabadde ku ssomero lya Ntinda School of Deaf nga kwetabyemu abakadde 25.
Ate abaliko obulemu, Peace Sserunkuuma atalina kibiina ye yawangudde n'obululu 16.
Robert Nkwangu Lutaaya owa NRM yawangudde ekya kkansala omusajja akiikirira abaliko obulemu n'obululu 20.

MUKO NO:
Ku kifo kya bakkansala abakiikirira abaliko obulemu ku disitulikiti, Lazaalo Biriwo owa NRM yawangudde n'obululu 57 n'amegga Abdul Majara atalina kibiina abaddeko eyafunye obululu 29. Baalondedde ku kitebe kya disitulikiti e Mukono.

Annet Nakanwagi owa NRM yayitawo tavuganyiziddwa ku kifo kya kkansala omukazi ow'abaliko obulemu.

MASAKA :
Okulonda kwa bakkansala abakiikirira abakozi e Masaka kwetobeseemu emivuyo okukkakkana nga kuyiise nga n'abamu ku beesimbyewo batemera mabega wa mitayimbwa.

Abalonzi abaasunsulwamu okwetaba mu kulonda kuno baakedde kweyiwa mu kisaawe kya Recreation grounds mu kibuga Masaka kyokka mu kifo kya bbookisi ebbiri, emu yokka ey'ekifo kya kkansala omukyala ye yaleeteddwa ate nga obululu obulimu butono okusinziira ku muwendo gw'abalonzi.

Kwabadde kubulako obululu 15. Ekyaddiridde kwabadde kukaayana era akulira ebyokulonda Sam Agaba n'alagira okulonda kuyimirire.

Agaba yategeezezza nti bagenda kusindika ensonga eno mu kakiiko e Kampala era olunaku lw'okulonda alujja kujja kubategeezebwa.

Omu ku beesimbyewo Irene Nanyunja yayooleddwa poliisi n'aggalirwa ku CPS ng'avunaanibwa okujinga emikono egyamusemba okwesimbawo.

Tukooye emivuyo mu kulonda Sadati Maganda: Ebyobufuzi ebijjuddemu entalo ezitali ku mazima ssi birungi, bwe baba batidde kalulu bakaveemu baleme okutawaanya abantu.

Emilly Ndagire: Empapula kwe bakwatidde kandideeti waffe zonna njingirire kubanaga ffe empapula entuufu tuzirina era twaziraga akakiiko k'ebyokulonda.

Maxy Namugabo: Obudde bwaffe bungi babumaze kubanga ffe twazze kulonda naye bazze mu kukola buzannyo obutatuyamba.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts