Bya Luke Kagiri
Bano baakwatibwa wiiki ewedde mu Munisipaali y'e Mityana, nga kigambibwa nti baali bakunga bannaabwe beekalakaase, olw'omubaka wa Munisipaali y'e Mityana Francis Zaake, eyali akwatiddwa e Kampala, bwe yali agenda okukyalira Robert Kyagulanyi owa NUP e Magere.
Abali ku bitanda bonna batuuze ku kyalo Kitinkokola ekiri mu divisoni y'e Ttamu mu Munisipaali y'e Mityana, nga basuubuzi ku kyalo kino.
Abamu ku bataawa kuliko; Matia Kibirige, Ali Musisi, Ramadhan Kaweesi ne Mohammed Nsereko nga bonna batuuze b'e Kitinkokola.
Abooluganda n'emikwano be twasanze nga babajjanjaba baatugambye nti abaserikale okwali abataali mu yunifoomu, aba poliisi ne UPDF babalumba ekiro mu maka gabwe nebakoona enzijji nebakwatibwa.
"Baamusanga azze ewaka ne bakonkona. Tuba tetunnaba kuggulawo olwo ne basamba oluggi nga bwebaboggola era olwamukwata ne bamuteekako empingu ne batandika okumukuba. Bang'amba nti nja kumusanga ku poliisi ne bamutwala nga bamukuba," Jesca Nambuusi mukyala wa Nsereko bwe yattottodde.
Nambuusi agamba nti wiiki yonna abadde agezaako okulambula bba ku poliisi kyokka oluusi nga takkirizibwa kumulaba ate emirundi emitono gy'amulabye asanze ali mu mbeera mbi nnyo nga basitula musitule.
"Baamujja mu kaduukulu nga basibe banne be bamusitudde ne bamuleeta. Tuzze tusaba babatuwe tubajjanjabe naye ne bagaana okutuusa lwe balabye ng'embeera esusse ne babata," bwatyo bwe yagasseeko.
We twabasangidde mu ddwaliro nga bonna balabika bali mu mbeera mbi, era nga tebasobola kunnyonnyola byabatuukako.
Kaweesa ye mu bigambo ebitono yabadde ajjukira nti yakubwa ate oluvannyuma n'asuulibwa ku kyalo Namukozi ekiri mu Divisoni ya Central.
Ono abooluganda lwe bakakasizza nti yadde yakwatibwa n'aggyibwa ewaka naye yalondebwa ku kkubo gye yali asuuliddwa.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala region Racheal Kawala, akkiriza nti bano baakwatibwa kyokka n'agamba nti poliisi oluusi ekozesa amaanyi ag'ekigero ng'ekwata abantu okusinziira ku mbeera.
Yagambye bagenda kunoonyereza balabe lwaki bano baakubibwa nnyo nga bakwatibwa era bwekikakasibwa olwo abaserikale bavunaanibwe.