Zaake yakwatibwa ab'ebyokwerinda abassibwa ewa Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ngas Bobi Wine nga Jan 16 bwe yali abayise okubasisinkanamu nga ababaka abaali bawangulidde ku tikiti ya NUP okuva mu bitundu ebyenjawulo nti era Kyagulanyi gwe yali akwasizza obuvunaanyizibwa okubakungaanya.
Mu nsisinkano gye yabaddemu ne bannamawulire e Lubaga mu ddwaliro gye yaweebwa ekitanda oluvannyuma lw'okukubwa, Zaake alumirizza abaserikale abaamutulugunyiza e Kireka okuli; Musa Walugembe, Hamdan ne Twesigye b'agamba nti bano yabasanga ku poliisi e Kasangati nga bamulinze era olwamutuusa ne balagira abaserikale okuddamu okumukuba batuuni ku bukongovule n'ennyingo.
ANNYONNYODDE EBYAMUTUUKAKO ABASERIKALE NGA BAMUKWATIRA EWA KYAGULANYI
Yagambye nti olunaku lwe baamukuba Kyagulanyi yamukubira essimu n'amulagira okukung'anya ababala bonna abaali bamaze okulangirirwa bamusisinkane mu makaage e Magere era ensisinkano yali yaakubaawo ku saawa 6 ez'omu ttuntu.
Yagambye nti we yatuukira ku Freedon Drive ( Ekikubo ekidda ewa Bobi Wine) yasanga waliwo emisanvu abaserikale tebaamukaluubiriza ne bamukkiriza okuyitawo bwe yavugako akabanga n'asanga emisanvu egy'okubiri abaserikale ne bamutegeeza nti mukama waffe ali mu maaso eyo ku misanvu egiriraanye ekikomera kya Kyagulanyi era ne bamukkiriza okuyitawo.
Wabula olwokuba yali anaatera okutuuka baamulagira emmotoka agireke atambuze bigere okutuuka ewa Kyagulanyi naye kye yakola n'asimba omuggo n'atambula mpola paka ku kikomera.
Zaake agamba nti yali anaatera okutuuka omuserikale eyali aduumira kwe kumulaba n'amubuuza nti ate ggwe oyiseewa okutuuka wano n'amutegeeza nti bang'ambye ggwe olina obuvunaanyizibwa n'agamba nti teyamukkiriza kumalayo bigambo n'amulagira okukyusa naye kye yakola.
Wabula aba atambula kwekubuuza omuserikale ono nti ssebo ye Pulezidenti anaasobola okujja n'atulaba omuserikale yamuddamu kimu nti sirina kyakukuddamu naye vva wano ogende.
Zaake agamba nti aba atambula agende omuserikale yamusindika n'agwa ku ttaka n'akwata n'omuggo gwe yali atambuza n'agumukubisa mu kiwato n'omugongo gwonna ne gukutukamu ebitundutundu. Ono yeegattibwakko abaserikale abaamusambasamba n'okumukulula ku ttaka wamu n'okuyuza engoye ze yali ayambadde oluvannyuma ne bamusuula mu kkomera k'emmtoka ly'emmotoka etambula lye baakazaako erya Nalufeenya ne bamutwala e Kasangati ku poliisi gy'agamba nti ate nayo bwe baamutusaayo baamukubirayo mizibu.
Yagambye nti newankubadde agenze akuba kumatu naye akyalina obulumi bungi mu mugongo ne mukiwato era mu kiseera kino atambulira ku kisipi ekyamusibiddwamu ng'ayambibwako emiggo.
Zaake agugumbudde poliisi ekimusaako nti ye yasosonkereza abaserikale abaamukubira e Magere n'agamba nti bwebaba bakakasa nti ye yabalumba baggyeyo obutambi kuba baamukubira ku kkamera zaabwe bwe kibalema agenda kuggyayo ebifaananyi ebyakwatibwa ku kamera za Bobi Wine kuba buli ekyali kigenda mumaaso weekiri ku butambi.