EBIBINJA by'abavubuka abakubi b'ebikonde ababadde bakulirwa Isaac Ssenyange ‘Mando Zebra', eyattiddwa abeebyokwerinda balonze omukulembeze omupya oluvannyuma ne bamutwala mu Kisenyi ne bamwanjula ew'akulira ebibinja byabwe mu Kampala.
Isaac Ssenyange Junior baamulonze ne bamukwasa obuvunaanyizibwa okukulira ebibinja bya kitaawe ebibadde mu munisipaali y'e Kawempe. Ab'ebibina kya Ssenyange abaakuhhaanidde e Bwaise ku Mmande baagambye nti ke bafunye omukulembeze omupya bagenda kutwala mu maaso emirimu gya Zebra ne bawera nti tebagenda kuva ku Pulezidenti Museveni ne NRM.
Abaalonze Isaac Senyange Junior kwabaddeko abeebikonde, n'abasituzi b'obuzito ssaako abavubuka b'omu Ghetto ne bakola ekibinja kimu kye baagambye nti kye bagenda okukozesa okukuuma obululu bwa Pulezidenti Museveni.
Zebra nga tannafa, yakwatibwa ku katambi mu lukiiko olwalimu RCC w'e Kawempe, Hood Hussein n'ategeeza nti alina ekibinja ekisobola okukkakkanya abawagizi ba Bobi Wine nga kye yeetaaga ze ssente ayambe Poliisi obutoonoona masasi na ttiyaggaasi ku beekalakaasi.
Oluvannyuma baayanjudde Isaac Sennyange Junior ewa mukama waabwe ow'oku ntikko Saadi Lukwago ng'ono era ye ssentebe wa LC I atwala Muzaana zooni mu Kisenyi.
Isaac Ssenyange Junior yategeezezza nti wadde abeebyokwerinda batta kitaawe kyokka alina obwesigwa mu Gavumenti nti egenda kubakwata bavunaanibwe.
Yagambye nti awagira Museveni era akkiririza mu ssentebe Saad Lukwago agenda kubaluhhamya ku mbeera ey'okukuuma akalulu ka Pulezidenti n'okutereeza ebyokwerinda mu Kampala.
"Tugenda kukuuma obululu bwa Pulezidenti ate tutwale emirimu gya taata Zebra mu maaso kubanga yali ayagala nnyo emirembe era ng'akolagana bulungi ne Pulezidenti Museveni."
Saad Lukwago yagambye nti ebibinja byabwe bigenda kuyamba ku byeebyokwerinda okukuuma emirembe n'obutebenkevu mu Kampala mu biseera by'akalulu nga kakubwa ne nga kawedde.
"Buli munisipaali mu Kampala tugirinamu ebibinja by'abavubuka ebigenda okukuuma obululu bwa Museveni. Tetwagala buvuyo mu kibuga era ffe be bayita abayaaye tugenda kuyambako ku baserikale beebyokwerinda," ssentebe Saad Lukwago bwe yagambye.
Lukwago yategeezezza nti ofiisi ennene mu Gavumenti zaamukkirizza okukwanaganya abavubuka ba Ghetto naddala abaali bakuba ebikonde okulaba nti bayambako okukuuma obululu bwa Museveni. Yagambye nti abavubuka bangi wadde tebalina mirimu naye ate baagala emirembe.
Ebibinja by'abavubuka okuva mu ggiimu z'ebikonde ez'enjawulo, abeetissi b'emigugu, abasituzi b'obuzito ssaako abatalina mirimu mu Ghetto bagenda kutambula nga bakuuma emirembe okukakasa nti tewali atuusa bulabe ku balonzi wadde okubba akalulu.
Bonna baabawadde obukookolo obubikka ku nnyindo n'emimwa ssaako emijoozi n'ebipande bya Museveni okubitimba mu buli kifo gye babeera ate n'okwambala basobole okwekuuma obulwadde bwa Covid 19.
Kyokka ebibinja byabadde byagala okutambula nga bayisa ebivvulu mu nguudo abaserikale ba miritale ne babalumba bubi. Baabadde batandika okubakuba kibooko ne babuna emiwabo era ebyokutambula awo we baabikomezza.
Oluvannyuma ebibinja byonna byalagiddwa okulinnya mmotoka baddeyo gye baavudde mu munisipaali ez'enjawulo ezikola Kampala.
Source