BULI kakisa Pulezidenti wa Amerika Donald Trump k'abadde asigazza okwekwasa okulemera mu buyinza kaggweereddewo ddala essaza lye yawaaba baddemu okulonda bwe bakuzzeemu era ne bamuwangula.
Okulonda kwabadde mu ssaza ly'e Atlanta mu kibuga Georgia era okubala obululu okwakomekkerezeddwa eggulo, aba DP abawagirwa Joe Biden baawangudde ebifo by'ababaka eby'enkizo mu ssaza eryo ekyakakasirizza ddala nti Biden wa kulayira nga January 20, 2021 nga Pulezidenti eyawangula akalulu akaakubwa nga November 3, 2020.
Ebyavudde mu kalulu biraga Omuddugavu Raphael Warnock ne Jon Ossoff nga bawangudde aba Republican okuli Kelly Loeffl er ne David Pedue nga kino kitegeeza nti aba DP benkanyizza omuwendo gw'ababaka 50 mu Palamenti ya Amerika.
Aba Republican nabo balina ababaka 50 era kino kitegeeza nti Biden tagenda kusanga buzibu kubanga benkanya ababaka ekitegeeza ne bwe kunaabanga kukuba kalulu ne bagwa maliri, etteeka lya Amerika eriragira omumyuka wa Pulezidenti okukuba akalulu akasemba bwe linaakolanga Kamala Harris n'akakuba, Biden ajja kuyisangamu by'ayagala mu bwangu.
Okulonda kwabadde kwa kuddamu oluvannyuma lwa Trump okwekubira enduulu mu kkooti nga bwe baamubba akalulu n'ababaka abawagirwa Biden ne bababbira kyokka ne bwe bazzeemu okulonda era aba Biden baawangudde.
Wano Trump weyabadde ategese okwekubagiriza akakase bannansi ba Amerika nti kituufu baamubba akalulu kyokka baamumezze kya bugazi olwo n'asigalira kwekalakaasa okulaga obutali bumativu bwe kubanga ne palamenti yakakasizza obuwanguzi bwa Joe Biden ku bwapulezidenti.
Ekiseera kino, Warnock eyawangudde ye Senator omuddugavu asoose okuwangula
akalulu okukiikirira essaza ly'e Atlanta mu palamenti. Essaza lino lyakuηηaanyizibwangamu abaddu bangi abaakolanga mu masamba.
Warnock eyawangudde, pasita w'abalokole asumba mu kkanisa ya Ebenezer Baptist Church mu Georgia.
Trump akoze buli ekisoboka okulaba ng'awakanya obuwanguzi bwa Biden n'atuuka n'okussa akazito kw'akulira eby'okulonda e Georgia waakiri amufunireyo obululu bw'abba obuwera emitwalo 11 kisobozese Trump okudda mu kibalo.
Eddoboozi nga Trump ng'alagira akulira eby'okulonda okubba obululu baalikwata ku katambi ne bakasaasaanya bannabyabufuzi ne bamwambalira nga bagamba nti kibeera kimenya amateeka g'ebyokulonda mu Amerika.
Baayiye abaserikale mu kibuga Washington okutangira abawagizi ba Trump be yakunze okweyiwa ku nguudo okwekalakaasa nga bawakanya eky'olukiiko okukakasa Biden ng'omuwanguzi ku bwapulezidenti bwa Amerika mu kalulu ke baakuba nga November 3, 2020.
Poliisi yakedde kutimba bupande obulabula abeetabye mu kwekalakaasa okwewala okukozesa obubi emmundu kyokka ng'abeekalakaasi Trump abaweereza obubaka obubakumamu omuliro ng'agamba nti ekimala kimala abaagala okwekomya eggwanga lyaffe tetulina kubakkiriza kulitwala.
Bino byabadde bigenda mu maaso, ekitongole ekikessi munda wa Amerika ekya FBI ne kifulumya lipooti eraga nti gye buvuddeko omukutu gwa Google we gwaviiridde ku mayengo, baabadde bakessi ba Russia abaaguyingiddemu nga baagala okubba ebyama wabula ne babatebuka.
Thursday, January 7, 2021
Trump bamumezze ogwokubiri
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...
-
South Africa's Health minister says the nation will still hit its COVID-19 vaccination targets, even as it pauses the use of the Johnson...