Basinzidde mu lukungaana lwabwe olutudde eLweza ne bategeeza nti Ntagali yaganza omukyala omulala ekintu ekikontana n'enjigiriza y'ekkanisa.
Wabula bagambye nti Ntagali yasobya ng'omuntu ekyo kye yakola baleme kukiteeka ku kkanisa yonna yo yasigala nga terina bbala.
Basazeewo nti avunaanibwe ng'amateeka g'ekkanisa bwe galagira.
Amateeka g'ekkanisa ge bayita ‘Provincial Canons' aga 1997 gazzibwa buggya mu 2018 galambika mu nnyingi 3:29 okutuuka 3.29.7 nti Omulabirizi azzizza omusango avunaanibwa mu kakiiko kebayita Provincial Tribunal.
Ebisaliddwawo abalabirizi bifulumiziddwa Adam Sadiiki omwogezi w'ekkanisa n'akiggumiza nti Ssabalabirizi Stanley Ntagali bye yafulumizza kwe basibira.