Friday, January 29, 2021

Tugenda mu kkooti kuwakanya obuwanguzi bwa Museveni - Kyagulanyi

Tugenda mu kkooti kuwakanya obuwanguzi bwa Museveni - Kyagulanyi

ROBERT Kyagulanyi (Bobi Wine) alangiridde nti ekibiina ky'akulembera ekya NUP bagenda mu kkooti okuwakanya obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni mu kalulu akawedde.

Kyagulanyi asinzidde mu makage e Magere olwaleero n'ategeeza nti bakimanyi bayinza obutafuna bwenkanya kyokka nakyo kabakikole bateeke kkooti ku minzaani.

Agambye nti obujulizi bwe bafunye okuva mu nsonda z'eggwanga ez'enjawulo bulala okugenda mu kkooti ne bagimatiza okusazaamu obuwanguzi n'eragira okulonda kuddemu oba okuddamu okubala akalulu.

Bannayuganda baakubye akalulu nga January 14, 2021 okulonda pulezidenti, sentebe w'akakiiko kebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama yalangiridde Yoweru Kaguta Tibuhaburwa Museveni ng'omuwanguzi.

Museveni yafunye obululu 5,851, 037 buno bwakoze ebitundu 58.64 ku 100 olwo n'addirirwa Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) owa NUP eyafunye obululu 3,475,298 obukola ebitundu 34.83 ku 100.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts