Monday, January 4, 2021

Abavubuka obulamu bwammwe mubuwe Katonda

Abavubuka obulamu bwammwe mubuwe  Katonda

ABAVUBUKA mu busumba bw'Abasodokisi obw'e Degeya - Kalagala mu disitulikiti y'e Luweero bakyusizza obukulembeze ne babakubiriza okukomya omuzze gw'okwesamba Katonda olw'okuba bakyali bato.

Fr. Yekosofaati Ssemakula.

Okubuulirira kuno kukoleddwa Rev. Fr. John Kibuuka Bossa atwala obusumba buno ng'omukolo gwabadde mu kigo ky'e ‘Anoonya Orthodox Centre' n'agamba nti abavubuka olw'okuba beewulira amaanyi n'obulamu, tebeefiirayo ku nsonga z'Eklesia n'okwewaayo eri Katonda.

"Mmwe abakulembeze mbasaba okugenda mu maaso n'okukubiriza bannammwe buli lwa Ssande okubeeranga mu Klesia okwebaza olwebyo by'abakolera n'okweggyamu endowooza egamba nti Katonda  wa bakulu bokka," Fr. Kibuuka eyabadde ayambibwako Dikoni Charles Jjingo bwe yategeezezza.

Ku mukolo guno, Fr.Yekosofati Ssemakula ow'Obusumba bw'e Kabonge yasabye abavubuka obutasoomooza baserikale ab'emmundu ekiyinza okubaviirako okufiirwa obulamu.

Fred Bakanoga ye Ssentebe omuggya eyasikidde Robert Mubiru. Amyukibwa Norah Nampala, Grecious Mbabazi owa bya nsimbi, Omuwandiisi ye Stuart Mutebi, Ow'amawulire ye Nectarios Ssemwogerere n'abalala.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts