Monday, January 4, 2021

EBIRIME EBIGENDA OKUKUWA SSENTE EZ'AMANGU MU 2021

EBIRIME EBIGENDA OKUKUWA SSENTE EZ'AMANGU MU 2021

KYABULIJJO embeera ya ssente okukaluba ng'omwaka gutandika ate nga ku mulundi guno kya kweyongera olw'omuggalo n'ekirwadde kya ssennyiga omukambwe ekyasannyalazza ebyenfuna omwaka gwonna oguwedde ate nga kikyalanda.

Ennyaanya ezikula amangu.

Kino kirese bangi nga batakula emitwe ku ngeri gye bagenda okutetenkanya embeera mu kaseera kano aka kanaayokya ani okweyimirizaawo, amaka gaabwe ate nga ne ffi izi zikubye koodi! Erimu ku makubo amangu mw'osobola okwetaasiza embeera eno bwe bulimi kuba waliwo ebirime ebisobola okukutaasa n'ofuna akasente ka mangu wakati w'ennaku 20 ne 90 n'oba ng'osobola okweyimirizaawo.

OKULIMA ENVA ENDIIRWA: Harriet Nakabaale owa Camp Green e Kawaala omukugu mu kulima enva endiirwa ate n'okulimira awafunda agamba nti bw'osimba enva endiirwa zisobola okukula amangu era n'ofuna ssente mu bwangu.

Singa ettaka oba olirabiridde bulungi era nga olitaddemu ekigimusa, osobola okukungula ddoodo, ebbugga n'ejjobyo mu nnaku 21 zokka. Ekirungi ku birime bye nkumenyedde waggulu kiri nti ng'oggyeeko ebbugga, doodo n'eggobe obikungula ebbanga eriwera.

Okugeza doodo buli lw'osala ate ng'aleeta amatabi era mu bbanga lya wiiki bbiri ate nga oddamu okunoga okumala erisoba mu mwaka omulamba. Wabula gwe ayagala ensigo z'enva endiirwa zino zimere mangu, osobola okuzinnyika mu mazzi olunaku lumu.

SUKUMAWIKI, SIPINAKI N'OBUTUNGULU OBW'EBIKOOLA BITWALA ENNAKU 30 N'OKUNGULA              Ennaku zino Bannayuganda batandise okulya sukumawiki ne sipinaki era gwe ayagala okufuna ssente ez'amangu okuva mu kulima osobola okubyekwata. Okufaananako enva endiirwa ze tusoose okulaba, bino nabyo bikula mangu nga mu mwezi gumu gwokka oba otandise okunoga olwo n'otwala ebbanga eddala nga lya mwaka mulamba n'ekitundu nga okyanoga ku kikolo kye kimu.

Obutungulu obw'ebikoola nabwo butwala ebbanga lya nnaku 30 n'otandika okubunogako wabula wano olina kuba nga wasimba ndokwa yaako. Singa osimba akasigo, kasobola n'okutwala omwezi nga tekannamera ekiyinza okukulwisa okufuna ssente.

NAKATI: Gwe ayagala okusimba nakati olina okumanya nti ojja kugumiikiriza emyezi ebiri gyokka okukungula n'okufuna ssente. Nakati omuganda akungulwa omulundi gumu kubanga ye okuula mukuule wabula waliwo ekika ekimanyiddwa nga ‘big leaf'.

Kino kyo okungula nga osala busazi era nga bwe kireeta amatabi. Eno ye nsonga lwaki olumu abalimi b'enva endiirwa batera okutabika ebika eby'enjawulo mu kifo kimu. Osanga omulimi nga mu nnimiro emu ataddemu ebbugga, ddoodo ne nakati. Ky'aba ayagala nti bw'akungulamu ebbugga mu nnaku 21, ate asigazaamu nakati gw'anaakungula mu myezi ebiri.

WOOTAMERONI: Ebika bya wootameroni ebisinga bitwala ennaku 28 - 30 okukungula okuva lw'osimbulizza. Yiika esimbibwa omukebe ogugula 300,000/- nga muvaamu ensigo 4,000. Wano okungula wakati wa meroni 8,000 ku 40,000 okusinziira ku ndabirira. Singa buli emu ogitunda 1,000/-, kitegeeza ofuna wakati w'obukadde 8 ku 40.

Bw'obeera ogenda kulima wootameroni, kikulu okumanya ekika ky'ogenda okulima kuba wootameroni zirimu ebika ebisoba mu 60 ate ng'ebimu bifaanagana mu ndabika (Kikuubo oba kiragala). Singa tomanyi kituufu ky'oyagala, oyinza okufunamu ekifu n'ofi irizibwa. Kikulu okukimanya nti buli kika kirina enfaanana yaakyo mu kubala nga waliwo ekika ekikungulwako ekibala kimu kyokka obulamu bwakyo bwonna ate nga waliwo ekisobola okukuwa ebibala 15.

ENNYAANYA: Ennyaanya kimu ku birime ebirinnya ebbeeyi naddala mu biseera eby'omusana. Okutandika mu February, okutuukira ddala mu May, bbookisi erinnya n'etuuka ku mitwalo 45 ku mulimi ate mu katale n'etuuka ku 60. Mu bbeedi ennyaanya emalamu ennaku 15 olwo n'ogisimbuliza ne mu nnimiro n'emalamu ennaku 75 okutandika okunoga.

Wabula weetaaga okuzifuuyira eddagala omuli ery'ekikoma, ebiwuka n'okuziwa ekigimusa naddala Nitrogen ne Calcium kyokka olw'okuba emyezi tugenda mu gya kasana, eddagala ly'ekikoma ligenda ttono ddala.

KASOOLI: Dr. Charles Sserwanga Kasozi akola n'ekitongole kya National Crops Resources Research Institute e Namulonge, agamba nti ekimu ku bye bakoze kwe kufulumya kasooli akula amangu ng'ebika kati ebisinga bikulira mu nnaku 90. Kasooli osobola okumufunamu amangu gamba singa omutunda mubisi eri abookya oba abamufumba. Bw'omusimba kati, kasooli wo abeera atuuka ku ntandikwa ya April, olwo omunwe n'ogutunda ku 500/- ku nnimiro.

Ebika bya kasooli nga Pana 513, ebirala ebitandika n'ekigambo "Longe" byonna, MM, Victoia, n'ebirala bisobola okukukolera obulungi ky'oyagala. Wabula olina okwegendereza omusiri gwo ogwa kasooli kuba obusaanyi kimu ku bitawaanya abalimi ba kasooli era okakase nti okozesa eddagala ettuufu mu budde obutuufu okubulwanyisa.

EBIJANJAALO: Ebika by'ebijanjaalo nga NARO BEAN 01, Nambaale omumpi (NABE 17), Nambaale omuwanvu (NABE 19), obwa kyenvu (NAROBEAN 03), Kanyeebwa (NABE 15), byonna bikulira mu nnaku 90.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts