AMAGYE gagumizza abantu abakolera mu Kampala nti tewali ajja kutabangula mirembe wadde bizinensi zaabwe noolwekyo bakomewo bakole.
Omwogezi w'ekibinja ekisooka ekyamagye, Maj Bilal Katamba yagambye nti abantu abaagenda mu byalo okulonda babadde bakyatidde okudda e Kampala okukola olw'ebigambo ebiyintingana nti Kampala tali bulungi.
Katamba yagambye nti okuva ku lunaku lw'okulonda wabaddewo ababadde batambuza ebigambo nti Kampala essaawa yonna atabanguka kye yagambye nti si kituufu kubanga ebyokwerinda binywezeddwa bulungi.
Yayongeddeko nti amagye, poliisi n'abebyokwerinda ebirala abali mu Kamapla tebagenda kuvaamu kati era bakuubeeramu okumala ebbanga eritali ggere noolwekyo abantu bakomewo bakole kubanga obukuumi weebuli.
Bano nga bali wamu n'abakakiiko k'ebyokulonda baalambudde Kampala ne bakakasa n'ebitundu ebiriraanyewo okwekeneenya embeera era baakakasizza nti embeera nnungi abantu baddembe okudda ku mirimu gyabwe okukola.
Source